TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muninkini wa Kaweesi ayagala kulaba Museveni yekka

Muninkini wa Kaweesi ayagala kulaba Museveni yekka

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2017

Muninkini wa Kaweesi ayagala kulaba Museveni yekka

Kob1 703x422

CHRISTINE Mbabazi eyali muninkini wa Kaweesi ayagala asisinkane Pulezidenti Museveni amubuulire by’amanyi kubanga ye muntu yekka kati gwe yeesiga. Ensonga z’omwogezi wa poliisi AIGP Andrew Felix Kaweesi eyakubwa amasasi emisana ttuku, n’attibwa; zabbulukukidde mu mukazi Mbabazi. Abaserikale mu kitongole ekikessi ekya ISO katono bakubagane ne poliisi mu maka g’omukazi ono e Lungujja mu Lubaga wiiki ewedde.

Aba ISO bamaze omwezi gumu nga bakuumira Mbabazi mu nnyumba ye gye yaakagula mu Ssendawula Zooni olw’obujulizi bwe bagamba bw’alina ku batta Kaweesi. Kyokka poliisi yabadde ezze ng’egamba erina okununula omukazi eyabadde alaajana ng’awakanya okumusibira mu nnyumba. Mu kiseera kino Mbabazi ali mu mikono gy’abajaasi abava mu ggye erikuuma Pulezidenti (SFC) eriduumirwa Col. Don Nabasa era yasabye bamuwe omukisa asisinkane Museveni kubanga ye muntu yekka kati gwe yeesiga mu bya Kaweesi.

MBABAZI AYAGALA MUSEVENI YEKKA

Mbabazi mu bubaka obwakwatiddwa ku maloboozi agagobererwa ebifaananyi (vidiyo) n’abusindika ng’akozesa essimu; yasoose kusiima Pulezidenti olw’okumusindikira abaserikale okuva mu ggye erimukuuma era nti okuva lwe bajja ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, kati alabawo ku kalembereza.

Aba SFC bwe baayingirawo, baagobawo poliisi ne ISO era kati be bakuuma omukazi wabula olumu bamukkiriza okufuluma ng’alina w’agenda. Wiiki eno omukazi abadde atera okugenda ku kalwaliro ka Dr. Nelson Mutyaba e Mutundwe era obukuumi nga babunyweza nnyo buli lw’aba agendayo. Mbabazi agamba nti yakosebwa mu bbanga ly’amaze nga baamusibira mu maka ge. Mu bubaka buno Mbabazi alina w’atuuka n’akaaba nga bw’akkaatiriza nti; “Omusaayi gwa Kaweesi teguyinza kukala ne gusaanirawo ddala ng’abaamutta ensi tebategedde!” Yagambye nti wadde aba ISO bagezaako okukimussaako nti yali mu lukwe olwatta Kaweesi, wabula enkwatagana gye yalina ne Afande yali ya maanyi nnyo nga tayinza kukkiriza kantu konna kabi kumutuukako.

Wakati mu maziga agattako nti: Kaweesi nnamwagala nnyo; nnamwagala kubanga yandabirira…yandabirira nnyo! Yalina “care” (okubudaabuda) era talinva ku mutima. Yali musajja mulungi, ng’alina omutima omulungi era omusaayi gwe gujja kukaaba okutuusa ng’amazima gavuddeyo.

Mu bubaka buno agamba nti omuntu yekka kati gw’alinamu essuubi ye Pulezidenti Museveni era ayagala aweebwe omukisa amusisinkane amubuulire by’amanyi era amuyitiremu n’embeera gy’ayitamu okuva Kaweesi lwe yattibwa okutuusa leero n’okunyigirizibwa kwasanze mu bitongole ebikuumaddembe ebinoonyereza ku batta Kaweesi.

Ekitongole kya ISO ekikulirwa Col. Frank Bagyenda Kaka mu bye baakuhhaanya balaga nti, Mbabazi yali mu lukwe era yaweebwa ensimbi obukadde 200 ze yakozesa okugula ennyumba gy’alimu kati.

Nti yayingiza ddereeva wa Kaweesi mu lukwe ng’amuwudiisizza nti teyali waakuttibwa era ne bw’anaaba akwatiddwa, omunene mu poliisi eyali ayagala Kaweesi attibwe, yali waakumuyamba okumuggya mu misango; olwo Geoffrey Mambewa agabane ssente. Mambewa nti yalina okussaako amataala ng’atuuse awali abatemu okubakakasa nti, Kaweesi mw’ali era n’emmotoka yalina okugisiba amangu eyimirire mu kkubo, abatemu batte Kaweesi nga teyeerwanyeeko.

Obubonero obwo bwombi we battira Kaweesi bwaliwo. Bino byonna Mbabazi abyegaana era ye by’amanyi ayagala abitegeeze Museveni yekka kati gw’alinamu essuubi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

760c92ca9f694295837ec90b52ac134f 220x290

Ssekiboobo aziikiddwa mu kitiibwa...

Omwami wa Kabaka ow'essaza ly'e Kyaggwe eyawummula, Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo olwaleero aziikiddwa...

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...