TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ababaka baagala Gav't yeddize amasomero g'obwannannyini

Ababaka baagala Gav't yeddize amasomero g'obwannannyini

By Muwanga Kakooza

Added 22nd October 2017

ABABAKA ba palamenti abatuula ku kakiiko k’ebyenjigiriza baagala gavumenti yeddize agamu ku masomero g’obwanannyini agali mu bitundu by’etalinaamu masomero kiyambe mu kutumbula ebyenjigiriza.

Pala 703x422

Amagezi gano gali mu  lipooti eyavudde mu kunoonyereza okwakoleddwa akakiiko kano  ku kya gavumenti okuggala amasomero g’obwannannyini agali mu mbeera embi ne kazuula nti kituufu agamu galimu emivuyo mu nzirukanya yaago omuli okweyambisa abasomesa abaakoma mu P.7, okusomesa abaana b’ebibiina ebya wansi okugeza nnasale wamu n’okugattika abayizi ab’ebibiina eby’enjawulo ne basomera mu kisenge kimu.

Emivuyo emirala egyazuuliddwa akakiiko ku masomero g’obwannannyini agamu mulimu okubeera mu bizimbe ebibi eby’obulabe eri abayizi, amasomero okuba mu bifo eby’obulabe ng’okumpi  n’enguudo, obutaba na kaabuyonjo, n’amasomero agamu ag’ebisulo okuyingiza abaana ab’emyaka emito ennyo kyokka ne batalabirirwa bulungi nga obutaweebwa mmere, okusinziira ku lipooti y’akakiiko kano akakulirwa omubaka wa disitulikiti y’e  Mbale, Nakayenze Galiwango.

Ababaka bagamba nti gavumenti yasuubiza okuzimba essomero lya Pulayimale waakiri limu mu buli muluka mw’etalina ssomero kyokka nga kino tekinnatuukirizibwa.

Kwe kusaba gavumenti okweddiza agamu ku masomero g’obwannannyini oba okugaddukanyiza awamu ne bannyini go n’okuyambako okusituka kiyambe mu kunyweza eby’enjigiriza.

Ababaka bagamba nti abayizi bakyatambula eng'endo empanvu okugenda ku masomero olw’ebitundu byabwe obutabaamu masomero nga bino byonna okukendeera kyetaaga gavumenti okukwatagana n’amasomero g’obwannannyini okukyusa embeera.      

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Un 220x290

Abooluganda lwa Nabukenya owa Poeple...

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, asinzidde mu kuziika, Ritah Nabukenya...

Time 220x290

Ebipya bizuuse ku nfa ya Nabukenya...

ABAALABYE akabenje akaavuddeko okufa kw’omuwala wa People Power, Ritah Nabukenya bye boogera bikontanye ne lipooti...

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira