TOP

Fr Luzindana awadde amagezi ku nkuza y'abaana

By Vivien Nakitende

Added 22nd October 2017

Fr Luzindana awadde amagezi ku nkuza y'abaana

Luz1 703x422

Fr Luzindana ng'asabira abayizi ba Mugwanya Preparatory Kabojja

Fr. Joseph Luzindana,  akubirizza abazadde okuyigiriza abaana baabwe okwebeezaawo n'okweyimirizaawo mu  nsi, sso ssi kusabiriza nakubawa buli kimu kyebabeera babasabye naddala ssente wabula bafube nnyo okubalaga engeri gye bazikolamu.

FR Luzindana okwogera bino abadde ku ssomero lya Mugwanya Preparatory School Kabojja, mu missa yokusabira abayizi b'essomero lino ab'ekibiina eky'omusanvu abagenda okutuula ebigezo by'akamalirizo mwabaweeredde emikisa okuyita obulungi ebigezi baybwe.

Agambye nti okusomesa omwana ssi kumusomesa kuyita bibuuzo n'ekiggwa wabula balina n'okubateekateeka obulungi era wano w'asinzidde n'asaba abazadde okukwatagana obulungi n'abasomesa okusobola okukwasaganya ensonga eno.

Oluvannyuma atongozza ekidiba ekiwugirwamu ekyazimbiddwa ku ssomero n'okutongoza emmotoka ya Ambulensi eyaweereddwa essomero, abayizi abaayitako mu ssomero lino ababeera mu ggwanga lya America.

Br. Godfrey Lutaaya akulira essomero lino asabye abazadde nabo okuwa abaana baabwe omukisa kuba omukisa gw'abazadde mukulu nnyo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.