TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Nantaba attottodde bwe yasimattuse abavubuka e Kayunga

Minisita Nantaba attottodde bwe yasimattuse abavubuka e Kayunga

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd October 2017

MINISITA Aidah Nantaba attottodde engeri gye yasimattukidde awatono okugajambulwa abatuuze e Kayunga ku by’ennyingo ey’ekkomo ku myaka gya Pulezidenti n’agamba nti kigenda kumubeerera kizibu okwebuuza ku bantu okuggyako ng’ayongeddwa obukuumi.

Siba 703x422

Ababaka Lugoloobi (ku kkono) ne Nantaba nga basibiddwaako obuwero obumyufu.

“SSinga ndi mufu! abavubuka baatuyiikidde mu lukuhhaana ne batusiba obuwero obumyuufu ku mpaka, kyokka twabadde tukyali awo Karangwa (ssentebe wa NRM e Kayunga) n’atuuka n’ebbiina ly’aba bodaboda 2010.

Emiggo ne gitandika n’abaserikale ba poliisi badduse batulese mu mikono gy’abantu abakyamu”, Nantaba bwe yategeezezza Bukedde eggulo ku Ssande.

Nantaba byamutuuseeko n’omubaka Amos Lugoloobi owa Ntenjeru North bwe baabadde mu lukiiko olwategekeddwa mu kabuga k’e Kayunga okufuna ebirowoozo by’abantu kyokka abantu ne babatabukira nga baagala basooke okubannyonnyola we bayimiridde ku nnyingo 102b eya Konsitityusoni.

“ Abavubuka tebaatuwadde mukisa kwogera ne batusiba obuwero obumyufu.

Nze bansibye obuwero buna nga tetulina bukuumi wadde,” Nantaba bwe yagambye.

Yannyonnyodde nti Karangwa n’ekibinja bwe baatuuse, okulwana ne kutandika n’agamba nti ddeereva we ye yamuwonyezza okufa kuba alina engeri gye yamuggyeewo wakati mu bavubuka ab’enjuyi zombi okukubagana.

Nantaba yagambye nti bangi ku bavubuka naddala ekibinja ekyabadde ne Karangwa baakubiddwa nnyo era bali mu malwaliro n’ebiwundu eby’amaanyi n’agattako nti embeera gye yalabye e Kayunga, kigenda kuba kizibu okwebuuza ku bantu okuggyako ng’ebyokwerinda byongeddwaamu amaanyi.

Bwe yabuuziddwa w’ayimiridde ku nnyingo 102b, Nantaba yagambye nti akyali muwagizi wa Pulezidenti Museveni wabula yagaanyi okwogera oba awagira okuggya ekkomo ku myaka mu Konsitityusoni kubanga akyalina okwebuuza ku bantu.

Nantaba yawakanyizza ebyogerwa nti yalangiridde dda nga bw’atawagira kukyusa Konsitityusoni n’agamba nti nga Minisita kimukakatako okuwagira ekisaliddwaawo mu kabineenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda