TOP
  • Home
  • Essomero
  • 'Mutabani wange mmuwadde omukisa okwenyigira mu bizinensi zange okusobola okukula nga yekkiririzaamu'

'Mutabani wange mmuwadde omukisa okwenyigira mu bizinensi zange okusobola okukula nga yekkiririzaamu'

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd October 2017

Obutekkiririzaamu mu baana kye kimu ku bintu abazadde kye babuusa amaaso oluusi ne balowooza nti kya kaseera buseera kijja kuggwawo ng'omwana akuze.

Katumwa 703x422

Katumwa ng'ali ne mutabani we mu bizinensi. EKIF: PROSSY NABABINGE

BYA PROSSY NABABINGE

Mu mbeera eya bulijjo, omwana obutekkiririzaamu kikosa enkula ye era bangi ne mu bukulu basigala b'eraba nga abatasobola kubaako kye bakola mu bulamu olw'engeri gye baakuzibwamu bazadde baabwe.

N'olwekyo, omuzadde yenna mu mbeera eya bulijjo, ekirabo ky'eteekwa obuteekwa okuwa omwana ky'ekyo eky'omuyamba okuviira ddala mu buto okukula nga yekkiririzaamu.

David Katumwa owa Katumwa Sports Centre akulaze engeri gy'ayambye mu  omwana we okwekkiririzaamu.

Bw'ati bw'anyumya;

Mutabani wange Sidney Katumwa (12), mmutendese okwekkiririzaamu mu kyonna ky'aba ataddeko engalo okukola.

Ng'eyaliko omwana omuto, waliwo ebikolwa ebyannyiizanga omuli;  abazadde okuntwala ng'omunafu atalina ky'asobola kukola, n'ebirala. Kino abazadde ensangi zino bakyakikola era kye kimu ku kiviirako abaana obutekkiririzaamu.

Omwana yenna w'atekkiririzaamu kabonero akalaga nti waliwo ebigambo n'ebikolwa ebitali bituufu ebikolebwa mu bulamu bwe okuva eri abazadde, abasomesa oba abakuza.

Ebigambo n'ebikolwa bino bivunza obwongo bwe (omwana) era buli lw'alowooza okubeerako ky'akola, obwongo bumujjukiza kimu; ebyo ebyamugambibwa nti tasobola kuba munafu!

Engeri gye nnyambye omwana wange okukula nga yekkiririzaamu

Ng'omuzadde, mmanyi nti omwana wange gy'ayita afuna okuvumibwa, okujeregebwa n'okusoomoozebwa okutali kumu okuva mu baana banne b'azannya nabo wamu n'abo b'asoma nabo sso nga n'olumu abasomesa be tusuubira okuzimba abaana baffe bakozesa ebigambo ebitasaana gye bali.

  1. Olw'okuba afuna okunyoomebwa, omulimu ogwange omukulu gy'ali gwa kunyiga biwundu eby'okumutima wadde ng'oluusi abeera tabing'ambye.
  2. Nneewala okumugeraageranya ku bantu abatalina muwendo  mu kitundu nga; abalalu, abatamiivu.
  3. Ebigambo ebimalamu omwana wange amaanyi sibyeyambisa, muno mwemuli ebigambo nga; Oli musiru, oli mulalu, ojja kubonaabona nnyo, n'ebirala ebiringa ebyo. Bino nnabiggya ne mukamwa kange kubanga bireetera omwana okwetwala ng'atalina mugaso mu nsi eno.
  4. Nkakasa nga sikulembeza kikolwa kya kubonereza buli mutabani wange lw'abeera mu nsobi. Kino nkyewala kubanga kitta okuyaayana kw'omwana okumanya era kino kibeera kitegeeza nti omuggaliddewo enziji z'okumanya ebyo by'atamanyi.
  5. Mujjukiza buli lunaku nti mmukkiririzaamu era ne bw'aba nga ky'akola kimulemye, mmuzzaamu amaanyi era ne mmulaga nti akyalina omukisa oguddamu okukitereeza.
  6. Mmuwa omukisa okwenyigira mu bizinensi yange bw'abeera n'obudde.
  7. Soogera na mwana wange mu busungu.

KW'OLABIRA OMWANA ATEKKIRIRIZAAMU

Omubiri gw’omwana gwogera butereevu n’obwongo. Mu kino nno, ebikolwa by’abaana biraga butereevu ekyo ekimuli mu mutwe. N'olwekyo, n’obutekkiririzaamu buviira ddala mu bwongo bw’omwana.

Bino wammanga kw'olabira omwana atekkiririzaamu;

Okutya okutunuulira omuntu mu maaso, okwogera ng’akankana singa wabaawo ekimubuuziddwa, okwelaliirikirira ennyo buli lw'aba ng’alina ky'agenda okukola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta