TOP

Ekivvulu kya Toto Festival kikomeddewo mu Ggiya

By Josephat Sseguya

Added 24th October 2017

Ekivvulu kya Toto Festival kikomeddewo mu Ggiya

Top1 703x422

Ba Kitunze ba Vision nga bali wamu ne bakutunzi okuva mu makampuni ag'enjawulo abatadde ssente mu kivvulu kya Toto Festival

EKIVVULU ky’abaana ekimalako omwaka ekya ‘Toto kids’ festival’ kikomyewo na maanyi. 

Kino ky’ekivvulu okusinziira ku Jovita Ajuna avunaanyizibwa ku katabo ka Toto magazine akafulumira mu lupapula lwa New Vision buli Lwakusatu, ekitegekebwa kkampuni ya Vision Group okusanyusa abaana ng’omwaka guggwako, okubakulisa okusoma n’okubaagaliza omwaka omupya.

Guno gugenda kuba mulundi gw'akusatu ng’ekibbiitu kino kitegekebwa ng’ekyasooka kyaliwo mwaka guwedde mu kisaawe kya Lugogo Rugby club Ssaako e Mbarara wonna ng’abazadde baatwalayo abaana mu bungi.

Eyo y’ensonga okusinziira ku Joweria Nabuuma avunaanyizibwa ku bivvulu ebitegekebwa Vision Group etwala ne Bukedde famire gye yawadde lwaki ebikujjuko bino butwaliddwa mu kisaawe e Nambole ku mulundi guno awanaasobola okubeera abantu abangi ate ng’okuyingira 10,000/- zokka buli mwana.

Mu lukiiko lw’abamawulire olutudde ku Pike house ku kitebe kya Vision Group olwalero akulira bakitunzi ba kkampuni eno, Susan Nsibirwa yebazizza amakampuni agayambyeko okuggusa ensonga y’abaana eno omuli;

Jude color solutions eyakiikiriddwa Henry Zzimbe kitunzi waayo agambye nti bagenda kugabira abaana amacupa agabeeramu amazzi (water bottles), obutambaala, abaana bajja kukubwa ebifaananyi bissibwe ku bikopo byabwe oba amasowaani ku bwereere n’ebirala.

Movit ekiikiriddwa Robert Kitenda Ggoobi omwogezi waayo agambye nti, bagenda kujja ne Baby Junior omwana akuba akalango akamanyiddwa ennyo nga Baby Njunya baana banne bamulabeko.

Soda wa Mirinda eyakiikiriddwa Tracy Kakuru maneja avunaanyizibwa ku bikwatagana ne soda oyo (brand manager). 

Jesa milk ekiikiriddwa Viola Namisango kitunzi waayo eyagambye nti bagenda kujja n’omuvuzi wa pikipiki z’empaka abaana gwe banyumirwa gwe bayita Isabella Brick, Rema Namakula gwe bagenda okukuba ebifaananyi n’abaana ab’enjawulo, bagenda kubasiiga feesi ku bwereere n’ebirala.

Post Bank ekiikiriddwa Jacky Kwesiga kitunzi waayo agambye nti bagenda kusomesa abaana ku ntereka ya ssente baabawe n’omukisa okuyingira mu kyuma ekigaba ssente ab’omukisa bayoole ze basobodde.

Omukolo gubaddeko n’abaana babiri abaakiikiridde bannaabwe ng’omu ye Mary Grace Banona owa Kampala international school ne Katuura Philip Musozi owa Kabojja junior school.

Joweria agambye nti emiryango gya kuggulwawo ssaawa bbiri ez’emisana ekibbiitu kitandike ku ssaawa nnya kiggwe 12 ez’akawungeezi.

Asabye abaana babakeeze kubanga emizannyo mingi ku mulundi guno n’agattako nti eby’okwerinda birungi ate nga buli mwana anaayingira wakuweebwa akakonge akasibwa ku mukono gwe nga kuliko nnamba ya simu y’omzuddewe ne bw’abeera abuze nga basobola okugikubako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...