TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukomye okugabananga eby'obugagga by'abafu - Museveni

Mukomye okugabananga eby'obugagga by'abafu - Museveni

By Muwanga Kakooza

Added 24th October 2017

PULEZIDENTI Museveni awabudde Bannayuganda okukomya omuze gw’okuyuzaayuza n’okubagananga ebintu by’abafu naddala ettaka n’agamba nti gulemesa enkulaakulana.

Djreedgxcaaesnx 703x422

Pulezidenti Museveni

Museveni era akunze abantu okwetaba mu kulonda kw’obukiiko bwa LC1 okubindabinda n’okulaba nga balonda ba NRM bokka.

Museveni yabadde ayogera ku leediyo Pacis e Arua gye yakkomekerezza kampeyini y’okusomesa abantu ku kawaayiro k’okukyusa Konsityusoni akagenda okuwa gavumenti obuyinza okukolera ebintu ebikulaakulanya eggwanga ku ttaka nnyini lyo ne bw’anaaba tannamatira na nsimbi zimuliyirirwa.

Museveni yanenyezza ab'amawulire n’abakulembeze abalimba be yagambye nti bakyayisizza abantu akawaayiro kano  nga bagamba nti kagenderera kubba ttaka lya bantu ekitali kituufu.

Yatangaazizza nti ettaka gavumenti ly’enaaba etutte ssi lya kuwa bayinvesita wabula lya kussaako bintu bigasiza wamu bantu n’enguudo, amalwaliro, amasomero, amasannyalaze n’ebirala.

Museveni yasabye abantu okukoppa Abazungu bave mu by’okutuulatuulanga n’okugabana ettaka naddala ery’abantu ababa bafudde.

N’agamba nti kisaana abantu ne bwakwataganira wamu okulikulaakulanya ne bagabana amagoba galivaamu lwe bafunayo ennyo okusinga okuliyuzaayuza.

Yayongeddeko nti famire z’Abazungu ez'amaanyi nnyingi zeeyongera amaanyi buli mwaka kuba bannyini zo ne bwe baba bafudde kuba bbo tebagabana byabuggagga bya mugenzi wabula bafuna migabo mu bizinensi.

Museveni yazzeemu okutegeeza nti kino ekisanja ssi kya kuzannyiramu (Hakuna  muchezo) n’agamba abakozi ba gavumenti abakumpanya naddala abalabiriza nti waliwo pulojekiti egenda okussibwa awantu ne bagula ettaka lyawo bafune ssente ez’endola okuva ku gavumenti beegendereze.   

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana