TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebya Ssebuufu tebinnaggwa: Abooluganda lwa Katushabe basaba buwumbi

Ebya Ssebuufu tebinnaggwa: Abooluganda lwa Katushabe basaba buwumbi

By Musasi wa Bukedde

Added 25th October 2017

EBYA Muhammad Ssebuufu ow’ekibanda kya Pine okutta omuntu tebinnaggwa.

Aaaaaabig703422 703x422

Abooluganda lw’omugenzi Donah Katushabe bamututte mu Kkooti Enkulu n’eyali aduumira poliisi ya CPS Aron Baguma nga baagala baliwe buwumbi olw’okuggyawo obulamu bw’omuntu waabwe.

Baakulembeddwa muganda w’omugenzi Lillian Katushabe eyategeezezza nti omugenzi yagula emmotoka UAX 481H okuva mu kibanda kya Ssebuufu mu October 2015 n’asasulako ssente ezimu ne wasigalayo baalansi wa bukadde mukaaga.

Baamuwamba okuva mu maka ge e Bwebajja ne bamutwala ku Pine gye baamutulugunyiza era eyali akulira poliisi ya CPS Aron Baguma bwe baamutuukirira ataase embeera Ssebuufu kigambibwa nti yamuwa ssente naddayo n’abaserikale be yali agenze nabo.

Baguma olwagenda bakanyama ba Ssebuufu baagenda mu maaso n’okumukuba ne bakozesa n’essimu ye okukubira abantu be amasimu omwali ne looya nga babalagira baweereze ssente ezaali zimubanjibwa bwe baba bakyayagala okumulaba nga mulamu.

Oluvannyuma baamutwala mu ddwaaliro e Mulago ng’ali mu mbeera mbi n’fa nga baakamutuusaayo.

Yagambye nti bavunaana Ssebuufu olw’obutafaayo ku bulamu bwa Katushabe eyali akuumibwa mu kibanda kye, obutakoma ku bakanyama be kumutulugunya n’obutateekawo mbeera erumirirwa bulamu bw’abantu.

Baguma bamuvunaana olw’obutayingira mu nsonga za Katushabe bwe yali atulugunyizibwa Ssebuufu ne bakanyama be.

Baagala basasulire ssente ab’ehhanda ze baasaasanya okuva gyebabeera okutuuka ku ggwanika e Mulago nga bawulidde nti afudde, ze baasasula eggwanika, ezaatambuza omulambo, okukozesa mu lumbe, entaana, obulumi bwe bayiseemu ne kalonda omulala nga baagala abasasule ssente ezisoba mu kawumbi ze basaasaanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Unity 220x290

Mutabani wa Chamilli anyiga biwundu...

EDMOND Osutu omutuuze w’e Kyebando Nsooba agambibwa okuba omukozi mu bbaala ya DNA Lounge esangibwa ku luguudo...

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka