TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muwala wange ye mukwano gwange asinga - Rema Namakula

Muwala wange ye mukwano gwange asinga - Rema Namakula

By Musasi wa Bukedde

Added 27th October 2017

Omuzadde okuzaala omwana kintu kirala sso nga n'omwana ono okufuuka mukwano gwo nakyo kyanjawulo.

Singa 703x422

Abazadde bangi bazaala abaana ne babakuza kyokka omukwano wakati w'omuzadde n'omwana ne gutabeerawo ne kiviirako abaana okwesiga abantu abalala singa babeera n'ekibanyiga.

Rema Namakula, akulaze engeri gy'akikolamu.

Muwala wange ye mukwano gwange asinga, enkolagana eno ngizimbye okuviira ddala ng'akyali muto.

Nga maama, nzikiriza nti omukwano wakati wa maama n'omwana guviira ddala mu kuyonsa kubanga wano w'atandikira okukwawula ennyo ku bantu abalala era ng'abeera asobola n'okwawula olusu lwo ku lw'abantu abalala.

Wabula nze okusembeza muwala wange nkikoze mu ngeri zino wammanga;

  • Musembeza gyendi okusobola okufuna obwesige bwe.
  • Mu buli kyenkola mmulaga nti ddala mwagala era nga kino kimuwa omukisa okunzikiririzaamu nga mukwano gwe asinga.
  • Okulaga muwala wange omukwano nnakitandikirawo nga nnakamuzaala era akuze akimanyi.
  • Njogera naye ng'omuntu omukulu era nga sinyooma busobozi bwe.
  • Sisiba busungu kiseera kiwanvu okwewala okukuumira omwana wange mu kutya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Got11 220x290

Engeri enkuba gye yagotaanyizza...

Engeri enkuba gye yagotaanyizza entambula n'okugoya amayumba e Ndejje

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala