TOP

Trump agugumbudde Putin owa Russia

By Musasi wa Bukedde

Added 27th October 2017

Pulezidenti Donald Trump avudde mu mbeera n’agugumbula Vladimir Putin nti Russia ye yeekiise mu ntegeka za Amerika okugolola ettumba omuvubuka wa North Korea Kim Jong un.

Putintrumphandshakertrimg1e1499461565415 703x422

Trump ne Putin

Trump mu mboozi ey’akafubo n’aba ttivvi ya ‘Fox Business Network’, teyalumye mu bigambo bwe balumbye Russia nti ekukuta ne North Korea n’agamba nti Amerika yandibadde yasonjola dda omuvubuka Kim Jong-un ssinga ssi Vladimir Putin.

Guno gwe mulundi ogusoose Pulezidenti Trump okulumba Putin obutereevu ku bya North Korea bukya obugulumbo bwa Amerika ne North Korea butandika.

Trump yagambye nti Russia kati y’emubobbya omutwe kubanga kaweefube wa Amerika okulaba nti Kim Jong-un bamusuuza ebyokulwanyisa ebya Nukiriya, Putin azze amulemesa, kyokka n’agamba nti ekyo nakyo Amerika egenda kukinogera eddagala.

Enkolagana ya Amerika ne Russia eyali esuubirwa okulongooka nga Trump azze mu buyinza nga bombi bagambibwa okubeera ab’omukwano kyokka gye buvuddeko, Trump yeefuulira Putin bwe yassa omukono ku tteeka ekkakali erissa nnatti ku Russia.

Palamenti ya Amerika eyitibwa Senate, yayisizza etteeka omuli nnatti enkakali ku Russia, Trump n’asooka okugaana okulissaako omukono olw’okutya nti kiyinza okunyiiza Putin, kyokka Bannakibiina ekya Republican baamussaako akazito Trump n’alissaako omukono ekyanyiiza Putin n’agoba bannansi ba Amerika 750 abaali bakola ku kitebe kya Amerika mu Russia.

Russia ne Amerika zibadde zigugulana okuva mu June olw’obutakkaanya bw’amawanga gombi ku byokwerinda eby’omu kitundu omuli amawanga agaali mu mukago ogwa Soviet Union ng’agamba gali ku ludda lwa Amerika ne Bulaaya ate amalala gakyali ku Russia.

Gye buvuddeko Russia yayungudde ennyonyi zaayo ennwaanyi ne zeekaaliisiza okumpi n’ensalo ya Estonia mu ngeri ey’okusoomooza omumyuka wa Pulezidenti wa Amerika, Mike Pence eyali ku bugenyi mu ggwanga eryo.

Estonia y’emu ku nsi ezaali zikola Soviet Union (USSR) kyokka mu 1991 USSR bwe yasasika, yeetongola ku Russia ne zeegatta ku Bulaaya era Amerika etinkiza nazo ekintu ekitabula Putin omutwe.

Pence bwe yabadde ku bugenyi mu Estonia, Amerika n’amawanga ga NATO amalala gaayolesezza ebyokulwanyisa, ekintu ekyaggye Putin mu mbeera n’ayungula ennyonyi za Russia ne zeekaaliisiza mu bwengula.

Okuva Trump lwe yalaalika okulumba North Korea, Putin azze amulumba nti yeerimba yekka okulowooza nti Amerika erina obusobozi okusaanyaawo ebyokulwanyisa nnamusiza ebya North Korea.

Putin yasinziira mu kibuga Moscow gye buvuddeko n’agamba nti North Korea kati w’etuuse ssi y’ensi Amerika gy’esobola okukanga n’okutiisatiisa n’ebyokugirumba kubanga ebyokulwanyisa ebya nukiriya by’erina bya bulamu eri ensi yonna.

Yagambye nti Russia tesobola kuwagira Amerika mu kuggula olutalo ku North Korea olw’obulabe obukiramu naddala ku mawanga nga Russia, China, South Korea, Japan n’amalala agaliraanye North Korea.

Pulezidenti Trump yagambye nti wakyaliwo ebintu by’akyatereeza era bwe binaggwa, Amerika ejja kulumba North Korea oba Russia eri ku ludda lwa Kim Jong –un kubanga Amerika nsi eyeesobola obulungi mu buli kimu.

TRUMP AKUBIDDE OWA CHINA ESSIMU

Olwamaze okugugumbula Putin, Trump n’akwata essimu n’akubira Pulezidenti wa China Xi Jinping n’amusiima olw’engeri China gy’ekutte ensonga za North Korea naddala okuwagira Amerika mu kumyumyula nnatti ku Kim Jong-un.

Trump yasoose kukulisa Jinping olw’okuwangula ekisanja ekirala nga Pulezidenti wa China n’amugamba nti yeesunga okukwatagana naye okulaba nti North Korea bagisuuza ebyokulwanyisa ebya Nukiriya kubanga biri mu mikono mikyamu egy’omulenzi Kim Jong-un abitunuulira ng’ekyokuzannyisa.

Ekitongole ky’amawulire mu China ekya Xinhua kyategeezezza mu mboozi yaabwe ku ssimu nti Pulezidenti Jinping yategeezezza Trump nti China terina buzibu kukolagana ne Amerika n’agamba nti yeesunga okukyala kwa Trump mu China omwezi ogujja.

Trump ateekateeka okukyalako mu mawanga aga Asia okuli China, Japan ne South Korea ku ntandikwa y’omwezi ogujja okwongera okunoonya obuwagizi mu bakulembeze b’amawanga ago okuwagira Amerika okukuba North Korea.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.