TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Byakoma wa? Abantu 5 battibwa batya olw’ettaka kyokka omusango ne guvumbeera

Byakoma wa? Abantu 5 battibwa batya olw’ettaka kyokka omusango ne guvumbeera

By Musasi wa Bukedde

Added 28th October 2017

Byakoma wa? Abantu 5 battibwa batya olw’ettaka kyokka omusango ne guvumbeera

Lab1 703x422

ABANTU bataano bwe battibwa omulundi gumu, aba famire baayazirananga bagamba nti, “Abantu baffe mubasse bubi…!” Emyaka gigenda kuwera ebiri bukya battibwa, era kati aba famire bakaaba bagamba, “Omusango gw’abantu baffe gukwatiddwa bubi…!” “Bubi….bubi…. bubi…” ky’ekigambo ekyayingira mu famire okuva ekibinja ky’abatuuze lwe kyakkakkana ku bannannyini ttaka ne babatta mu ngeri eyanakuwaza buli muntu.

Obutemu buno abasinga baabussa ku ntalo z’ettaka ezisusse kyokka nga tewali agonjoola; ate abakulembeze abalala ne bagamba nti abaasattulula obukiiko obwagonjoolanga ensonga z’ettaka mu bitundu ye kanaaluzaala w’okutemula abantu enkya n’eggulo olw’ettaka eryatuweebwa Katonda nga tataddeewo kakwakkulizo.

ENGERI GYE BATTA ABANTU 5 OMULUNDI GUMU

Charles Matovu 38, ne mukuluwe Paul Bukenya 40, be baali bannannyini ttaka erisangibwa ku kyalo Kalwayo mu ggombolola y’e Lwamata mu disitulikiti y’e Kiboga.

Oluvannyuma lw’okwabya olumbe lwa kitaabwe ne bagabana ettaka eryo eriwezaako yiika 350, baatandika kaweefube okwerula empenda n’okulaba bwe bakwatagana n’abasenze; wabula tebaamanya nti ettaka eryo yali ntaana eyasamye erinze okubamira!

Baabatta n’abantu abalala basatu okuli Maj. Mark Mugisha 40, Swilik Mukunyu ne Ddereeva waabwe era ddereeva bwe baamala okumusanjaga, n’emmotoka mwe yali ne bagiteekera omuliro n’ebengeya.

Emmotoka yali ebaggye mu maka gaabwe e Nansana mu Wakiso ng’ebatutte Kiboga awaali ettaka lye baasikira. December 9, 2015 buli lwe lutuuka, lujja n’ensisi mu bulamu bwa Yudaya Bukenya nnamwandu wa Paul Bukenya!

Ensisi eno, Yudaya abeera ajjukira engeri ey’entiisa gye baatemaatema omwagalwa we ne bamufumita n’amafumu agaamuggya mu bulamu bw’ensi; kyokka nga kye bamuttira kikye! Baamulesa abaana abato abataliiko ayamba era mukazi wattu kati okufuna eky’okuliisa abaana asiiba ku mudaala gw’amenvu n’ennyaanya e Nansana ku ky’e Wamala, omusana ne gumukalangira awo.

Okusoma kw’abaana kwagootaana anti mu ttaamu emu fiizi zirabika ate mu ttaamu eddako ne zibula. Justine Nanteza, nnamwandu wa Matovu yagambye nti olunaku lwali Lwakusatu era bba yamusiibula bulungi. Yamuteerako n’ekyemisana kubanga yali amutegeezezza nti ensonga ezaali zibatutte zaali nnyangu nnyo era zaali zaakubamalira ekiseera kitono bakomewo.

E Nansana baasimbula essaawa ziri mu 5:00 ez’oku makya era nga Matovu asuubira nti we zinaawerera 9:00 bajja kuba bavuddeyo. Nanteza yakanda kulinda taata w’abaana nga tadda!

Yali tayinza kukifumiitiriza nti gwe yali alinda, akalimi k’essaawa we kaakoonera ku 11:00 ez’akawungeezi nga yattiddwa dda. Oluvannyuma kyategeerekeka nti abeebibanja naddala abeesenza ku ttaka nga tebagoberedde mateeka, be baakulembera okusanjaga abantu.

BAABATTIRA MU NJU YA SSENTEBE

Lipoota ya poliisi eraga nti bonna baabattira mu nnyumba ya Ssentebe, Ssande Musumba era omulambo gwa Bukenya gwasangibwa mu ddiiro ate ogwa mutoowe Matovu baagusanga gugalamidde mu lukuubo olwawula eddiiro ku kisenge ky’eddiiro.

Omulambo gwa Maj. Mugisha baagusanga mu mulyango era siteetimenti ezaakolebwa ku poliisi e Kiboga zaalaga nti baamutta agezaako okudduka. Swalik Mukunyu yabuuka mu nnyumba ng’ayita mu ddirisa ery’emmanju, wabula naye baamutaayiza ng’adduka ne bamuttira emmanju okuliraana kaabuyonjo.

Ddereeva ye bwe yalaba batandise okusanjaga abantu be yali atutte, kwe kukoleeza emmotoka adduke; kyokka naye baamutega ebiti era ne bamuggya mu mmotoka ne bamukuba okutuusa lwe baamutta. Ekyo tekyabamalira, n’emmotoka ne bagyokya.

 EMMERE GYE BAABATEGEKERA YALIMU OBUTWA?

Siteetimenti z’abamu ku baakwatibwa zaalaga nti bannannyini ttaka bwe baatuuka baasanga olukiiko lwatudde dda nga be balindiddwa. Baasooka kubayingiza mu nnyumba ne babagabula ekijjulo kye baali babategekedde, wabula ne bafunamu okutya. Okusinziira ku siteetimenti; bonna beekuba obwama ne bakkaanya baleme kulya nga batidde nti mwandibaamu emmimbiri.

Eyo abaabatta nti gye baakozesa ng’emmanduso okubabuuza lwaki bazize emmere. Amafumu gaavaayo n’amajambiya ne basanjaga omu kw’omu era n’abaali bagezaako okudduka ne babataayiza ne babatta bonna.

SSENTEBE YE YATEGEKA OLUKIIKO MWE BATTIRA ABANTU? Nnamwandu Nanteza yagambyenti, bba entegeka eyasooka yali yaakugenda ku ttaka ku Lwokubiri; wabula ne balemesebwa eby’entambula. Ekyaddako yali ssimu gy’agamba nti yakubwa Ssentebe Ssande ng’ayita Matovu ne Bukenya mu lukiiko n’abatuuze.

Waaliwo enteeseganya ezaali zigenda mu maaso nga bannannyini ttaka baagala abeebibanja beegule. Ssande mu kukuba essimu yabakakasa nga bwe yali amatizza buli mutuuze okukkiriza okwegula, nti era ekyali kisigadde be banannyini ttaka okugendayo bakkaanye ku miwendo gy’okwegula.

Kigambibwa nti Bukenya ne Matovu baafunamu okwekengera kubanga Ssande yali abakubira amasimu ag’okumukumu ng’abategeeza nga bwe yakunze buli muntu era Olwokusatu beerese buli kintu, bagende mu lukiiko olwo bamalirize ensonga zonna. Ku makya g’Olwokusatu, nti era Ssande yayongera okubakubira amasimu.

Mu kwekengera okwo, baasalawo ne bategeeza ku Maj. Mugisha eyali mukwano gwabwe e Nansana we baakulira, era n’akkiriza okubawerekerako ng’ali wamu ne Mukunyu. Baafuna ne ddereeva olwo ne bawera bataano, wabula abaabatta tebaatalizaako wadde omuntu omu bw’ati! Siteetimenti Ssande gye yakolera ku poliisi e Kiboga yeesammula eky’okuyita bannannyini ttaka mu lukiiko.

Yagamba nti wadde baali boogeraganya ne bannannyini ttaka ku ssimu enfunda nnyingi, wabula nti ku luno yeekanga alaba bajja badduka nga waliwo abantu ababagoba n’emiggo n’amajambiya.

Ssande yagamba nti, olwokuba bannannyini ttaka baali bamanyi amaka ge ate nga bakimanyi nti ye Ssentebe, baalowooza nti y’ajja okubataasa ku bantu abaali babatabukidde.

Nti yagezaako okubaggalira mu nnyumba abataase, wabula abantu ne bamusinza amaanyi ne babakuba ne babatta. Wabula bino bambega baabikubamu ebituli nga beesigama ku bino wammanga:

1 Obujulizi obulaga nti ye yayita bannannyini ttaka mu lukiiko bwali bungi.

2 Obujulizi obulaga nti yali ategese olukiiko mu maka ge nabwo bwavaayo.

3 Obubonero obulaga nti yagezaako okutaasa abantu tebwaliwo; okugeza oluggi lw’ennyumba terwaliko kamogo ate nga mu siteetimenti yalaga nti yabasibira mu nnyumba, abatuuze ne basindika oluggi ne bayingira ku kifuba.

4 Emiggo egifaanana egyakozesebwa mu butemu gyasangibwa mu nnyumba ya Ssentebe nga gyategekebwa mu nsonda.

5 Tewaaliwo bujulizi bulaganti Ssande yakubira ku poliisi essimu okugiyita edduukirire. Essimu ezaayita poliisi zaakubwa bantu balala okuli ne Ssentebe eyali aggyiddwaamu obwesige nga bagamba nti yali akolagana ne bannannyini ttaka; ne bamusikiza Ssande. 

6 Ssande bwe baamubuuza abantu abaakola obutemu obwo yagamba nti yali takyabajjukira olw’akavuyo akaaliwo; ekyasigala kibuusibwabuusibwa.

 

ABANTU 50 BONNA BAYIMBUDDWA

Obutemu buno nga bwakakolebwa; omuduumizi wa poliisi e Kiboga Hannington Bushaija yakulemberamu ttiimu eyakola okunoonyereza n’okukwata abateeberezebwa okwenyigira mu ttemu eryo.

Baakwata abantu 55 nga ne Ssentebe Ssande mw’omutwalidde. Baasunsulwa era abamu baayimbulirwa ku poliisi ate abalala omuwaabi wa gavumenti e Kiboga ye yalagira baggyibwe ku fayiro ng’obujulizi obubaliko alaze nti tebumatiza; kyokka abalala baabayimbulidde mu kkooti nga beeyimiriddwa.

Mu kiseera kino, abantu 53 abaali bakwatiddwa balya butaala era babiri bokka be bakyakuumirwa mu kkomera e Kigo ate nabo baataddeyo okusaba mu kkooti enkulu nga basaba okweyimirirwa.

Fayiro y’omusango yasindikibwa mu kkooti enkulu, abavunaanibwa batandike okuwoza; kyokka olw’okwetuuma kw’emisango, omwaka lwe banaatandika okuguwozesa tebannagumanya.

Ssaalongo Peter Kasozi mukulu wa Bukenya ne Matovu yagambye nti, ekisinga okubaluma kwe kuyimbula kumpi abantu bonna; ate ne baddayo ku ttaka ne beega- 5 battibwa batya olw’ettaka omusango ne guvumbeera zaanya.

Yagambye nti kiri mu ggiraasi nti abatta abantu abo baali baluubirira kwegazaanya ku ttaka nga tewali abanyeenya, era mu butabaawo kibakolwako, ekigendererwa kyabwe kiba kituukiridde.

Yagambye nti obwannannyini ku ttaka eryo tebuliiko kubuusabuusa wabula abantu abeesenza ku ttaka eryo, nga n’abamu baali mu Ntarahamwe abaava e Rwanda be baakulembera okutta bannannyini ttaka. Yagasseeko nti omusango okugootaana kwatandikira ku poliisi bw’eteekola kunoonyereza kunywevu ate n’etandika okuyimbula abaali bakwatiddwa.

Ekimu ku bye bataakebera y’emmere ey’omuceere egambibwa nti yalimu obutwa. David Freddie Egesa, owa kkampuni ya Missing Link ekola okunoonyereza ku buzzi bw’emisango yagambye nti emmere eno eba kuba nga yakeberwa ne kizuulwa nti erimu obutwa; kyandyongedde okuggumiza obujulizi obulaga nti abatemu baali baakyetegedde era amaka mwe baafumbira emmere gandibadde tegalina bwe gaggyibwa mu lukwe.

Vincent Ssekate omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango yagambye nti, poliisi yakola okunoonyereza okulungi mu musango guno era abaasunsulwa ne bongerwayo mu kkooti era kati obuvunaanyizibwa buli mu mikono gy’omuwaabi wa gavumenti n’ekitongole ekiramuzi.

Yagasseeko nti abantu okuyimbulwa ku kakalu ka poliisi oba ku kakalu ka kkooti, tekirina kumalamu bannannyini musango maanyi kubanga eryo ddembe eryassibwa mu Ssemateeka wabula teritta musango.

Ssaalongo Peter Kasozi yagambye nti, okubulawo kw’obukiiko obugonjoola ensonga z’ettaka ky’ekimu ku bireese emitawaana gy’ettaka okufiiramu abantu. Yannyonnyodde nti balowooze ku ky’okuzzaawo obukiiko obwo okutaasa obulamu bw’abantu n’ebintu byabwe ebinyagibwa n’eryaanyi.

Yagasseeko nti okuva lwe baabattira abantu baabwe ku ttaka eryo, kati n’abaasigalawo batya okuddayo kubanga abantu kumpi bonna baakomawo ku ttaka.

 OBUKIIKO BW’ETTAKA BWE BUNAAMALAWO OKUTTIhhANA?

Minisita omubeezi ow’ebyettaka, Persis Namuganza yagambye nti baatandise kaweefube w’okuzzaawo obukiiko bw’ettaka (Land Tribunals) okuyambako mu kugonjoola enkaayana z’ettaka ezivaamu n’okuyiwa omusaayi.

Obukiiko buno bwassibwa mu Ssemateeka wa 1995 era ne bunywezebwa etteeka ly’ettaka erya 1998. Bwatandika okukola mu 2000 wabula mu 2004 eyali Ssaabalamuzi Benjamin Odoki n’awa ekiragiro ekibuyimiriza.

Ensonga enkulu gye yawa ya bbula lya nsimbi kubanga ezassibwanga mu mbalirira okuddukanya obukiiko buno zaali ntono ate ng’omulimu gwabwo mugazi kubanga okwawukanako ne kkooti, emisango bano baagisaliranga ku ttaka wennyini awali enkaayana.

Omwogezi wa Minisitule y’ettaka, Dennis Obbo yagambye nti ku mulundi guno baagala obukiiko buno bubeere wansi wa Minisitule y’ettaka. Mu kusookaobukiiko bwali wansi wa Minisitule y’eby’amateeka nga Ssaabalamuzi y’abulinako obuyinza.

Namuganza yagambye nti ensonga endala eyalemesa obukiiko buno kwe kubuyingizaamu kyekubiira w’ebyobufuzi n’alambulula nti mu disitulikiti nyingi ng’osanga obukiiko butambulira ku ntoli za bannabyabufuzi ab’amaanyi mu disitulikiti olwo ne basala emisango ne kyekubiira.

Mu disitulikiti endala, nti bassangako abantu abatalina bisaanyizo n’obumanyi naddala mu byamateeka era mu nteekateeka empya, ebyo byonna baagala babitereeze.

Bannabyabufuzi bazze balabikira mu misango gy’ettaka egiwerako era ne mu gw’e Kiboga, omu ku baserikale ba poliisi abaali ku musango yategeezezza Bukedde nti baafunanga ebiragiro okuyimbula abantu abamu era ng’ebiragiro ebyo biva ewa munnabyabufuzi omu ow’amaanyi mu kitundu eyabategeezanga nti abantu abakwatiddwa be batambulirwako kampeyini mu kitundu. We baakwatira abantu ng’akalulu ka 2016 kakubye kkoodi era akazito kaali kanene nga bannabyabufuzi bafa kimu kalulu.

Nti mu kubassaako akazito, mwe baayimbulira ne mukyala wa Ssentebe Ssande nga tebamutuusizza mu kkooti. Omubaka George Wilson Nsamba Kumama, omumyuka w’akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku by’amayumba, ettaka n’eby’enguudo yagambye nti okumalawo ebizibu byonna ku ttaka, gavumenti erina kussa maanyi ku nsawo esasula bannannyini ttaka abaagala okutunda ettaka okuli abasenze, olwo abeebibanja abali ku ttaka ne bafuna ebyapa n’obwannannyini obw’enkomeredde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...