TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baroza, eyali omuyambi wa Kayihura bamukwatidde mu Algeria

Baroza, eyali omuyambi wa Kayihura bamukwatidde mu Algeria

By Musasi wa Bukedde

Added 29th October 2017

Eyali omuyambi wa Gen. Kale Kayihura Jonathan Baroza aba CMI gwe basinga okwetaaga okubaako bye bamubuuza we bwazibidde ku Lwomukaaga ng’amawulire agava mu Algeria galaga nti ekibinja ky’abaserikale ba CMI abaasindikiddwa okumukomyawo baamukutte.

Latest004pix 703x422

Jonathan Baroza. Ekifaananyi kya Daily Monitor: http://www.monitor.co.ug/image/view/-/3870650/highRes/1602496/-/maxw/600/-/wp38w8z/-/latest004+pix.jpg

“Siri mwogezi wa CMI naye kye nsobola okukubbirako Baroza yakwatiddwa era essaawa yonna akomezebwawo.” Ensonda mu CMI bwe zaategeezezza.

Kigambibwa nti, Baroza yakwatiddwa mu kibuga Algiers ekya Algeria gy’abadde yasindikibwa okukwanaganya eby’obukessi ku kitebe kya Uganda mu Algeria ne famire ye era akuumirwa mu kifo ekimu w’agenda okuggyibwa akomezebwewo mu Uganda.

“Abaserikale abaagenze mu Algeria tebaagenze ku misoni y’amagye baagenze ng’abantu abaabulijjo. Okukomyawo Baroza kijja kubeetagisa okumufunira tiketi y’ennyonnyi emuzza mu Uganda kubanga engeri gye yali asindikiddwa ku mirimu tiketi yafuna emutwala tekwaliko emuzza.” Ensonda bwe zaategeezezza.

Ensonda zaagasseeko nti, okuva mu Algeria okujja mu Uganda, tewali nnyonyi ebuuka butereevu okutuuka ku kisaawe e Ntebe. Zigattako nti bandibadde banguyirwa okumutuusa e Uganda singa yabadde misoni y’amagye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lop2 220x290

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye...

Omusumba Bp. Silvester Kisitu asabye Bannayuganda okubeera abaweereza abalungi

Kuba 220x290

Minisitule efulumizza entegeka...

MINISITA w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni azzizzaamu abazadde, abayizi n’abasomesa essuubi nti singa...

Kip1 220x290

Geo Steady ne mukazi we, Prima...

Geo Steady ne mukazi we, Prima omulamwa gwa Corona bagutegeera

Lab1 220x290

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa...

Fifi agabidde eb’e Ggaba eby’okukozesa mu kiseera kya Kalantiini

Shutterstockeditorial10434333bm 220x290

Coronavirus: Amerika kiri bubi,...

Corona ayongedde okwewanisa abantu emitima okwetooloola ensi yonna era Pulezidenti wa Amerika Donald Trump yalabudde...