TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde abakaka abaana okusoma bye batasobola baweereddwa amagezi.

Abazadde abakaka abaana okusoma bye batasobola baweereddwa amagezi.

By Moses Lemisa

Added 31st October 2017

Abazadde abakaka abaana okusoma bye batasobola baweereddwa amagezi.

Bub1 703x422

Yahaya Kyabangi nnannyini ssomero lya Ggangu ng'ayogera eri abayizi

ABAZADDE balabuddwa okukomya okwagaliza abaana baabwe ebintu nga bbo bya baabalema ekiviriddeko abaana okusoma ne batuuka wagulu n’ebibalemerera .

Bino byayogeddwa Haji Twaha Lukwanzi nannyini wa woteeri ya TAL Cottages esangibwa e Lubaga Kabuusu ku mukolo gw’okusabira abayizi ba Gangu Moslim erisangibwa ku lwe busaabala abagenda okutuula ebigezo bya PLE

Lukwanzi yagambye nti abazadde bangi baagala nnyo okufuula abaana baabwe ebintu ebyenjawulo kyokka nga bbo bya balema .

“Gwe obwa Dokita bwakulema okusoma ate oyagala omwana asome afuuke Dokita nga tolina kyomuyambyeko ku muwabula ku bikwatagana ne bya Dokita , kyandibadde kirungi omwana n’omuleka n'asoma ye kyawulira kya yagala okusinga okumukaka mpozi ng’omukwasizza naawe kye wassoma”

Yahaya Kyabangi nnanyini ssomero lino ne Ibrahim Ndugga omukulu we ssomero baasabye abazadde okukomya okunyiigira amasomero nga bagagobye abaana ebisale by’amassomero , baagasseeko nti omuzadde kyandibadde
kirungi n’okuteeka omwana mu ssomero ly’osobola nga kino kikwanguyizza okumusasulira ssente .


“ Omwana buli lwatuula mu kibiina nga tagobeddwa bisale bya ssomero kimuyamba okusoma obulungi naye buli lwagobwa olwe bisale by’essomero kimuviirako okukola obubi” Kyabangi ne Ndugga bwe baategeezezza

Okusabira abayizi kwakulembeddwaamu Sheik Abdul Khalidubi  ng’ono yasabye abayizi obutatya bigezo kuba tewali kyanjawulo kibirimu kuba ebintu byonna baabisoma ate bbo abazadde baasabye abaana baabwe obutabaswaza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata