TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Raphael Magyezi bamulemesezza okwanja ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti mu kakiiko k'ebyamateeka; Aweze obutakaddamu

Raphael Magyezi bamulemesezza okwanja ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti mu kakiiko k'ebyamateeka; Aweze obutakaddamu

By Kizito Musoke

Added 31st October 2017

Raphael Magyezi bamulemesezza okwanja ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti mu kakiiko k'ebyamateeka; Aweze obutakaddamu

Raf2 703x422

Raphael Magyezi ng'annyonnyola ebibadde mu kakiiko

OMUBAKA Raphael Magyezi (Igara West)eyaleeta ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti  aweze nga bwataggya kuddamu kugenda mu kakiiko ka Palamenti ake byamateeka  olwa babaka baayogeddeko ng’abatalina mpisa nga bateesa.

Magyezi  eyatuuse mu kakiiko ku ssaawa 4:00 ez’oku makya, yakandaaliridde okutuusa ku ssaawa munaana ababaka bwe baabadde bamulemesezza okwanja ebbago lye tteeka gye bali eriruubirira okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti.

Wadde Magyezi yamaze n’ayanja ebbago lye mu kakiiko, kyokka tebaamuganyizza kulyogerera nga bagamba nti teryayisiddwa mu makubo matuufu nga lyanjibwa mu Palamenti.

Ssentebe wa kakiiko Jacob Oboth yamulagidde okwetambulira n’amutegeeza nga bwalimuyita ng’amwetaaze oluvannyuma.

Ababaka okubadde Ssemujju Nganda (Kira Munisipaali),  Medard Seggona (Busiro East), Mathias Mpuuga (Masaka Munisipaali), Abdu Katuntu (Bugweri), Monicah Amoding (mukazi/Kumi) be basinze okutabukira.

Magyezi bwamaze okufuluma ategeezezza nti ne bwe balimuyita olulala talidda. Yaweze ng’ensonga zino bwagenda okuzitwala ewa nampala wa Gavumenti, Ruth Nankabirwa amutegeeza ku busiwuufu bwe mpisa bwalabye obutakkirizika kuba obwedda buli mubaka kyasanga kyayogera nga tebawulira wadde ssentebe kyabagamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo