TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab’e Mityana bawagidde okukyusa ekkomo ku myaka

Ab’e Mityana bawagidde okukyusa ekkomo ku myaka

By Musasi wa Bukedde

Added 1st November 2017

Ab’e Mityana bawagidde okukyusa ekkomo ku myaka

Mit2 703x422

ABANTU ba Mityana South South bawagidde eky’okukwata ku nnyingo 102b eteeka ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Bano nga bakulembeddwaamu omubaka wa Mityana South mu palamenti, Henry Makumbi Kamya ssaako omubaka omukazi owa Mityana Judith Nabakooba baategeezezza nga gavumenti ya NRM bw’ekoze ebirungi mu myaka gy’emaze mu bukulembeze noolwekyo tebalina kumurekerera.

 

Olukuηηaana lw’okwebuuzaako lwabadde ku kitebe ky’eggombolola y’e Namungo nga waasooseewo okuyisa ebivvulu okuva mu kabuga k’e Kikonge ku lw’e Mityana nga muno mwegattiddwaamu n’abavubuka abawakanya okukyusa ennyingo 102b. Makumbi yategeezezza nti Mityana South erina ebizibu bingi ebyetaaga okukolebwako nga bino byonna byetaaga ssente okubimalawo.

“Siyinza kukkiriza kuva wali ssente ne ηηenda mu batalina ng’ate neetaaga okukola ku bintu bingi mu kitundu kyange era we nsabira abalonzi bange okuvaayo okuwagira okukwata ku nnyingo 102b,’’ Makumbi bwe yategeezezza.

Yakakasizza Bannamityana South nga bwe yamaze enteekateeka z’okubunyisa amasannyalaze mu kitundu kino n’abategeeza nti waakwongera okubasakira ssente okuva mu gavumenti beekulaakulanye.

Omubaka omukazi owa Mityana, Judith Nabakooba yasabye Bannamityana okuva mu ntalo wabula bafube okusaba obuyambi okuva mu Gavumenti beekulaakulanye. Yagambye nti awagira eky’okukyusa ekkomo ku myaka gya pulezidenti n’asaba ne Bannamityana okukiwagira.

Mu lukuηηaana luno Kamya yatonedde abalonzi be ambyulensi empya n’emmotoka ekika kya Canter zibayambeko mu bizibu eby’enjawulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.