TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi ba Yudesi Primary School baweereddwa omukisa

Abayizi ba Yudesi Primary School baweereddwa omukisa

By Musasi wa Bukedde

Added 1st November 2017

Abayizi ba Yudesi Primary School baweereddwa omukisa

So1 703x422

Abayizi b'essomero lya Yudesi Primary school nga babasabira

Bya Prossy Nababinge

Ng'abayizi b'ekibiina eky'omusanvu betegekera okutuula ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo enkya, abayizi okuva ku ssomero lya Yudesi Primary School Kalerwe baweereddwa omukisa ogusembayo nga bagenda mu bibuuzo byabwe nga bayita mu missa n'okusaala edduwa.

Okuwa abayizi bano omukisa Kutandise n'okusaba mu ddini ez'enjawulo era ng'abayizi abayisiraamu bebasoose okusaala edduwa oluvannyuma n'abenzikiriza endala ne batandika okusaba.

Okusaba kwetabiddwaamu abasomesa, abazadde n'abakulembeze ssaako ne bannaddiini ab'ebiti eby'enjawulo okubadde owa owab'Abakulitaayo  Rev.Herbert Kiviira okuva ku St. Nicholas Church Kalerwe, ow'Abakatoliki  Fr.Kizito okuva ku St.Kizito Bwaise Parish sso ng'akulembedde okusaala edduwa abadde Sheik Ssuudi Kaweesa okuva ku muzikiti gwa Nabweru Masgid

Abayizi bonna basabiddwa okubeera abavumu baveemu okutya nga balowooza mbu ebibuuzo bizibu ssaako n'okubeera n'empisa kibayambeko okubeera abantu ab'omugaso mu nsi.

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano