TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Aba NRM e Misiri bawagidde Ssemateeka akyusibwe

Aba NRM e Misiri bawagidde Ssemateeka akyusibwe

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd November 2017

ABAWAGIZI ba NRM e Misiri (Egypt) bawagidde eky’okukyusa mu nnyingo ya Ssemateeka eya 102 b, okuggyawo ekkomo ku myaka okuggyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti

Nabisere2 703x422

Ssentebe w'aba NRM ababeera wabweru wa Uganda Mw. Patrick Asiimwe (ku kkono) n'akulira ettabi lya NRM e Misiri Muky. Jennife Nabisere nga bali mu lukungana e Cairo

Bino baabituukiddeko mu lukung'aana lwabwe olwabadde mu kibuga Cairo, olwakubiriziddwa ssentebe waabwe Muky. Jennifer Nabisere nga lwetabiddwaamu n’akulira abawagizi ba NRM ababeera mu mawanga g’ebweru, Mw. Patrick Asiimwe.

Nga bakubaganya ebirowoozo  mu lukiiko luno, obwedda buli akwata akazindaalo awagira eky’okuggyawo ekkomo ku myaka nga bagamba nti bwe kisigalawo kyandikugira abakulembeze abalungi abandigasizza eggwanga okutwala ofiisi.

 ba  e isiri nga baaniriza sentebe waabwe w atrick siimwe wakati bwe yabadde yakatuuka ku kisaawe e airoABAWAGIZI ba NRM e Misiri nga baaniriza Ssentebe waabwe Mw. Patrick Asiimwe (wakati) bwe yabadde yakatuuka ku kisaawe e Cairo

Bano beegasse ku bannaabwe ababeera mu mawanga g’ebweru amalala abawagira NRM abazze bayisa ebiteeso ebisemba okuggyawo ekkomo ku myaka omuli ab’e Turkey ne Bungereza.

Mw. Asiimwe  agenda atabaala amawanga ag’enjawulo ng’alambula abawagizi ba NRM abaliyo n’okukunga Bannayuganda abalala okwegatta ku kibiina kye era nga kaweefube ono yamutandikidde Turkey gye buvuddeko.

Mu kutuuka ku kisaawe e Cairo Asiimwe yayaniriziddwa abawagizi ba NRM abakulemnbeddwamu Muky. Nabisere n’olukiiko lwe olufuzi.

Ng’ayogera  gye bali, Mw. Asiimwe yabeebazizza okuwagira NRM ne Pulezidenti Museveni  n’abasaba okwongera okumuwagira asobole okunyweza enkulaakulana etuukiddwako .

  nga basanyusa annayuganda abawagira  abeetabye mu lukiiko mwe basembedde okukyusa mu semateeka ABAZINYI nga basanyusa Bannayuganda abawagira NRM abeetabye mu lukiiko mwe basembedde okukyusa mu Ssemateeka.

“Mbebaza okuwagira eky’okuggyawo ekkomo ku myaka era njagala okubakakasa nti ne bannammwe mu mawanga amalala gye tulina amatabi, ensonga eno bagiwagira ekisigalidde be babaka baffe aba Palamenti okutwala eddoboozi lyaffe bakyuse mu nnyingo eno”, Mw. Asiimwe bwe yategeezezza.

Mu kusooka Muky. Nabisere yeebazizza bammemba baabwe olw’obuwagizi bwe balaze ne ssentebe waabwe Mw. Asiimwe olw’obukulembeze bwe n’agamba nti abatuusizza ku bintu bingi mu kiseera ekitono kye yaakamala mu ntebe omuli okwegatta n’okuwagira enkulaakulana eka mu Uganda.

 sentebe wabawagizi ba  ababeera owberu wa ganda w atrick siimwe nabakulembeze be isiri nga batongoza ikwateko Ssentebe w'abawagizi ba NRM ababeera wabweru wa Uganda Mw. Patrick Asiimwe n'abakulembeze b'e Misiri nga batongoza "Gikwateko"

Mw. Asiimwe bw’ava e Misiri agenda kukyalako e Sweden n’oluvannyuma ayolekere South Africa ku ntandikwa y’omwaka ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...