TOP

Abalumiriza Gashumba okubafera beesowoddeyo

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd November 2017

ABANTU abalumiriza Frank Gashumba okubafera basitudde enkundi nga bagamba nti, amagye okumukwata nabo gwe mukisa gwe bafunye okusasulwa ssente zaabwe.

Ngali 703x422

Mwennyango, Nsubuga ne Ssekayombya , abalumiriza Gashumba okubafera

ABANTU abalumiriza Frank Gashumba okubafera basitudde enkundi nga bagamba nti, amagye okumukwata nabo gwe mukisa gwe bafunye okusasulwa ssente zaabwe.

Bagamba nti Gashumba asinze kubafera ng’ayita mu ddiiru z’okubatwala ebweru nga bagendera ku ttiimu ya Pulezidenti Museveni gy’atambula nayo ng’abakungu abakolera mu ofiisi ye!

Emisango baagiroopye ku poliisi naye bagamba ebadde tennabayamba.

GASHUMBA B’AZZE AFERA

Ben Bargio Nyombi, ali mu Amerika ku kyeyo yategeezezza Bukedde eggulo nti, “Twasisinkana ne Gashumba ku ofiisi za Vision Group we yajjiranga okukola pulogulamu y’Akabbinkano.

Bwe nagenda mu Amerika, waliwo omukazi atalina mikono Bukedde TV gwe yalaga. Nayagala okuyamba omukyala ono ne nteeka obubaka ku facebook nga mmunoonya. Gashumba yampeereza obubaka n’antegeeza nti omukazi amumanyi, ne mmuweereza 500,000/- azimuwe.

Yansaba mpeereze 4,000,000/- amugulire bodaboda afunengamu ssente ezimubeezaawo.

Namutegeeza nti ezo ssente sizirina. Waliwo omulala KCCA gwe yakwata ne bbebi we ng’atundira ku luguudo ne bamukasuka ku kabangali. Ono naye Gashumba yantegeeza nti amumanyi ne mmuweereza 200,000/-.

Oluvannyuma yantegeeza nti kyetaagisa 3,000,000/- okumuggya mu kkomera, ne mmugamba sizirina.

Lumu yampeereza obubaka nti ‘Kikoofiira ajja eyo naye beetaaga omuntu abeere ‘Delegate’.

Yang'amba nti bajja kwetaaga 6,000,000/-. Nafuna omuntu ne ntegeeza Gashumba nti nja kumuwa 4,000,000/-.

Namuweerezaako 2,000,000/- ne mmusuubiza okumuwa endala nga wayise wiiki. Yankubira amasimu ng’ampeeka ssente ne mmwekengera.

Nanoonya ebimukwatako ng’amawulire ga Bukedde Online gaaamuwandiikako dda emboozi eziwera nga bw’ali omufere!

Nasalawo okumwanika ku Facebook kyokka abantu baaweereza obubaka nga bamwekokkola. Ku bano kwaliko n’abakazi abaalina ekibiina e Masaka be yafera nti alina embuzi.

Yafera ne bwanamukulu w’e Masaka, kati ali e Boston n’abalala. Tasosola mwavu, mugagga, bbanka n’omuntu waabulijjo.

Abdul Nsubuga

Mu January w’omwaka guno, nali Dubai nga nkola, mukwano gwange Fred Luswata n’antegeeza nga Gashumba bw’alina ddiiru efuna.

Yali yaakutwala bantu Bulaaya nga baalina kutambula nga bakungu abawerekeddeko Pulezidenti Museveni mu nkuhhaana ze.

Ddiiru yali nti bwe twandituuse eyo, nga buli omu akwata gage. Olw’okuba e Dubai ssente zaali ntono, navaayo ne nkomawo nkutule ddiiru eno.

Nga ntuuse mu Uganda, Luswata yatukwasa omukyala gwe nategeerako erya Lydia eyatuyunga ku Gashumba. Ono yantuusa ku Gashumba nga January 5, 2017 ne mmanya nti nze n’obwavu twawukanye.

Twasisinkana mu Kampala ku luguudo lw’e Ntebe okuliraana Kamu Kamu Plaza. Gashumba yantegeeza nti okunnyingiza ddiiru nnina okuleeta 7,000,000/-.

Ku olwo namuwaako 6,000,000/- kaasi, enkeera ne mmwongera 1,000,000/-ezaali zisigaddeyo kwe nagatta n’obufaananyi bwange busatu.

Yampa empapula n’ahhamba nti olugendo lwali lwakubaawo nga January 16, 2017. Ng’olunaku mulindwa lutuuse era nga nneesunga bya nsusso, Gashumba yakantema nti Pulezidenti akyusizza entambula ye!

Yahhumya nti ajja kuntegeeza olunaku Pulezidenti lw’anaaba asazeewo. Okuva olwo yatandika okumbuzaabuza nga bwe mmukubira essimu anziramu nti ajja kunziriza ssente zange ne paasipooti wabula n’okutuusa kati tabimpanga.

Joseph Ssekayombya mu kiseera kino ng’ali Sweden yategeezezza nti, Gashumba yansaba 5,000,000/- ng’ansuubizza okuntwalira ku kkonvoyi ya Museveni ng’agenda e Bungereza.

Yasooka n’ansaba 2,500,000/- ze namuwa mu kaasi ku Kampala Road okuliraana Cham Towers. Twakkiriziganya nti endala nja kuzimuwa ng’ampadde Viza.

Wabula olwamala okumuwa ssente, yatandika okumbuzaabuza era teyaddamu kukwata ssimu yange.

Michael Ssenfuma

Ono yagenda poliisi ya CPS mu Kampala nga May 10, 2017 ng’ayagala poliisi ekwate Gashumba olw’okumuggyako 7,000,000/- ng’amusuubizza okumutwala ebweru okukola.

Yamuggulako omusango ku SD:29/03/05/17. Abaserikale baayita Gashumba ku poliisi n’ategeeza nti yali waakutuuka mu ddakiika 30 kyokka essimu n’agiggyako era teyaddamu kulabika.

Abavubuka basatu okuli Frank Businge, Dora Mwennyango ne Arisen Turingimana bajja ku ofiisi za Bukedde nga January 25, 2016 ne balumiriza Gashumba okubanyagako ssente buli omu ddoola 1,000 ng’abasuubizza okubatwala ebweru okufuna emirimu ng’ayita mu kkampuni ye gye yatandikawo eya ‘Sarafina Skills Service.’

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup