TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusumba avudde mu mbeera n'alumako mukyala we engalo

Omusumba avudde mu mbeera n'alumako mukyala we engalo

By Joseph Mutebi

Added 6th November 2017

Omusumba avudde mu mbeera n'alumako mukyala we engalo

Pas1 703x422

Paasita Wisdom Bumalu ne mukyala we Nalunga nga bali ku poliisi

ABASUMBA  ba balokole  bavudde mu mbeera omwami n’aluma ku mukyala we engalo n'agikutulako ng’entabwe  eva ku ngeri gye balina okudukanyamu kkanisa yaabwe eno.

Paasita Wisdom Bumalu 24, omutuuze w’e Nsangi naye nga y’omu ku basumba ba b'ekkanisa ya ‘God’s Holly Power Church’ e Nateete ku Mackay ekulemberwa Paasita Florence Nalunga agambye nti wa myaka 37, wadde nga poliisi egamba nti asussa n’emyaka 55, yeyavudde mu mbeera n'alumako muganzi we Nalunga engalo.

 Nalunga agasangiddwa olwaleero ku poliisi y’e Nateete ng’akutte akaveera akadugavu omubadde engalo ye,  ensajja muganzi we Paasita Bulamu gye yamulumyeko n’agikutulako atumbuse n'akaaba n’agamba nti kituufu omuvubuka ono babadde baagalana naye yagenze okulaba nga ayagala ku mutta amutwaleko kkanisa ye n'amugoba.

Ye Bulamu ategeezezza poliisi nti okuva ku ntandikwa y’omwaka oguwedde  Nalunga yamusanga ku kubbo ng’abulira enjiri n'amusaba bagende bakole bonna mu kkanisa ye nga baweereza katonda ne nzikiriza.

“Bwe natuuka mu kkanisa eno waayitawo akaseera katono Nalunga nangamba nti mukama amulabikidde n'amugamba nti nfuuke bba era nange nenzikkiriza kubanga nagenda okulaba  ng’alimu mwoyo” Bwatyo Bulamu bwategeezezza.

Ayongeddeko nti basooka kusula mu Kikajjo gye bava ne bapangisa e Nsangi era abadde Nalunga agendayo n'asulayo nga nemu kiseera kino engoye ze gyeziri wabula ng’abadde tayagala bantu ku kimanya.

Wabula obuzibu bwonna webwavudde ku Ssande nakedde okugenda ku kkanisa eno tusumbe endiga zaffe ne munnange nga bulijjo oluvannyuma lw’e kkanisa eno okukwatayo batandiika okuneefulira  nga baagala okugingobamu era olwatuusewo ne bangoba.

Nabadde nkyetegerezza ekigenda mu maaso Nalunga nansindikira endiga zaffe ne bankuba bwe bampalula ku koolansi wabula nange nakwatiddwa obusungu ne muluma engalo ne kutuukako.

“Ekirungi matidde ne mbeera muganzi wange gya mpisizaamu era sikyalina kye njagala mu kkanisa ye wabula agye ewange anooneyo engoye ze kubanga n’eby’omukwano mbikooye kasigale nzekka” Bulamu bweyategeezezza. Nalunga agambye nti yali alowooza nti Bulamu obwongo bukoola bulungi naye kirabika mulalu era takyamwetaga mu kkanisa ye.

Akulira poliisi y’e Nateete ASP/Mohammed Byansi ategeezezza nti kituufu abaagalana bano balwanye buli omu natuusa ku munne obuvune obwamanyi wabula Bulamu yayiseewo nalumako Nalunga engalo era bamuguddeko omusango ku fayiiro nnamba SD,36,05,11,2017 ogw’okutuusa ku muntu ebisago ebyamanyi era okunoonyereza ku kyangenda mu maaso okuzuula ekituufu ekibalwanya.

Yalabudde abavubuka abakyali abato okukomya okuganza abakyala abakuze kubanga entalo tezisobola kuggwa mu maka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...