TOP

Embeera mu malwaliro ekalubye

By Musasi wa Bukedde

Added 9th November 2017

Daphine Florence Nalwadda yaasangiddwa mu ddwaaliro lino ng’apooca ne wuzzi ezaamutungibwa oluvannyuma lw’okutemwatemwa bba Dan Ssonko omwezi mulamba oguyise ng’amulanga bwenzi kyokka okuva akeediimo lwe kaatandise, obujjanjabi ne buyimirira.

Hosp2 703x422

Omukyala ne bba nga bakonkomadde ne bbebi waabwe ku ddwaliro e Kaliisizo

Bya KAKOOZA MUWANGA, PETER SSAAVA, JOHN BOSCO MULYOWA, MARGRET ZALWANGO NE HENRY KASOMOKO


EMBEERA mu malwaliro ga Gavumenti eyongedde okukaluba olw’akeediimo k’abasawo abassizza wansi ebikola nga baagala Gavumenti esooke okulongoosa embeera mwe bakolera, okubongeza omusaala n’okubawa ensako.


Ku ddwaaliro Ekkulu e Mulago, badokita tebaalabise ku mulimu, ate n’abatono abaabaddeyo nga bakola kw’abo bokka abaleeteddwa nga bayi nnyo. Erivaniya Kyawusiku ow’e Kirungi e Mubende yabadde azze kufuna bujjanjabi ku waadi ya kookolo teyabufunye ate ng’ayonoonye obusente bwonna bwe yabadde nabwo mu ntambula.


Eddwaaliro ly’e Kawempe abalwadde baasazeewo kudda waka nga bakukkuluma wabula waadi y’abakyala abazaala yabaddemu abasawo abakola kw’abo bokka abazze nga bali bubi ddala.


Eddwaaliro ly’e Kiruddu abalwadde tebaabaddeyo ng’abamu bagamba nti, baabadde bagenzeeyo ku Lwokubiri ne babagoba nga babategeeza nti bakomewo ng’akeediimo kawedde. Joan Mirembe eyabadde agenzeeyo okufuna obujjanjabi yategeezezza nti abalwadde baasobeddwa kubanga n’obulwaliro obw’obwannannyini bukozesezza embeera eno okwongeza ebisale ku bujjanjabi n’eddagala.


Eddwaaliro lya KCCA mu Kisenyi yo abasawo baakoze nga bagamba nti baabadde tebayinza kuleka bantu kufa wabula abamu ku balwadde ne bategeeza nti ekizibu kya baasanzeeyo ly’ebbula ly’eddagala n’obungi bw’abalwadde obweyongedde omuli n’abo abaavudde e Mulago ne mu malwaliro amalala.

Rose Nakiyingi ow’e Kasanje mu Wakiso yategeezezza nti mu kitundu kye amalwaliro agamuli okumpi gonna abasawo tebaabaddeyo kwe kusalawo okugenda mu Kisenyi.


Omulwadde Raymond Ssempijja eyasangiddwa ku ddwaaliro e Kitebi yeemulugunyizza ku basawo abali ku keediimo n’agamba nti: Kigasa ki okusigala eka n'otakola ku balwadde ng'eno abaleetebwa bafa ate nga wasoma omulimu gw'okujjanjaba n'olayira nti ojja kukola omulimu ogwo mu buli mbeera okusobola okutaasa obulamu!


Eddwaliro ly’e Kaliisizo mu Kyotera ekifo awatuukirwa abalwadde abava ebweru baakiggadde.

 mulwadde eyasangiddwa e itebi ealth entre Omulwadde eyasangiddwa e Kitebi Health Centre IV.

 

Waadi z’abakyala n’abaana nazo zaakoseddwa.

Daphine Florence Nalwadda yaasangiddwa mu ddwaaliro lino ng’apooca ne wuzzi ezaamutungibwa oluvannyuma lw’okutemwatemwa bba Dan Ssonko omwezi mulamba oguyise ng’amulanga bwenzi kyokka okuva akeediimo lwe kaatandise, obujjanjabi ne buyimirira.


GAVUMENTI ERAZE BY’EGENDA OKUKOLA:
1 Minisita w’ebyobulamu, Jane Ruth Acheng eggulo yafulumizza ekiwandiiko n’ategeeza nti gavumenti egenda kusasula ensako y’abasawo abali mu kugezesebwa (Interns) ya 960,000/- buli omu so si 740,000/- nga bwe zaali zisaliddwa.


2 Abasawo abaddayo okusoma diguli eyookubiri baakusasulwa ensako ku mirimu gye bakola nga bali mu kusoma oluvannyuma lw’okubeetegereza.


3 Okulinda ennongoosereza ekolebwa mu misaala gy’abakozi ba Gavumenti bonna egenda okufulumizibwa ku nkomerero y’omwezi guno kubanga yaakulambika n’emisaala gy’abasawo.

Yasabye abasawo badde ku mulimu nga bwe balinda bino.
Kyokka omwogezi w’ekibiina ekigatta abasawo Dr. Faul Kavuma yategeezezza Bukedde nti bo beetegefu okugumiikiriza ennongoosereza ekolebwe kubanga ebuzaayo ebbanga eritaweza mwezi gumu.

Baasaba okulongoosa embeera mwe bakolera ng’okuteeka eddagala mu malwaliro ne ggiraavuzi minisita by’ataayogeddeko era baagala nabyo birowoozebweko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...