TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyalimbye bba olubuto bamukutte abbye omwana e Kawempe

Eyalimbye bba olubuto bamukutte abbye omwana e Kawempe

By Musasi wa Bukedde

Added 10th November 2017

OMWANA gwe yasooka okuzaala yafa. Bwe yafunye olubuto olwokubiri ne luvaamu nga wano we yasinzidde okubba omwana asobole okukuuma omukwano gwe ne bba.

Hawa1 703x422

Hawa Nankya eyabbye bbebi.

Bya MOREEN NABWEETEME

OMWANA gwe yasooka okuzaala yafa. Bwe yafunye olubuto olwokubiri ne luvaamu nga wano we yasinzidde okubba omwana asobole okukuuma omukwano gwe ne bba.

Hawa Nankya 19 omutuuze w’e Bwaise ku luguudo Northern By Pass yakwatiddwa ku Lwokusatu mu ddwaaliro lya Mulago Kawempe erya KCCA ng’abbye omwana wa Aisha Nakyanzi omutuuze w’e Kawanda gwe yabadde yaakazaala.

Nakyanzi yagambye nti omwana baamumubbyeeko ku Lwakusatu bwe yabadde agenze okufuna ebbaluwa ebasiibula, omwana n’amulekera bba, John Masengere. Kigambibwa nti Nankya yakozesezza olukujjukujju n’abba omwana ono.

Masengere yategeezezza nti mukyala we bwe yagenze okunona ebbaluwa wano Nankya we yagambidde Masengere agende agambe mukyala we amuwe ebbaluwa ye.

 asengere ngasitudde bbebi waabwe gwe baabadde babbye u ddyo ye akyanzi u katono ye bebi eyabadde abbiddwa Masengere ng’asitudde bbebi waabwe gwe baabadde babbye. Ku ddyo ye Nakyanzi. Mu katono ye bebi eyabadde abbiddwa

 

Masengere yakutte omwana n’amuwa Nankya kuba okuva lwe baagenda mu ddwaaliro babadde bakolagana nga bamanyi nti muntumulamu.

Yagasseeko nti Nankya bwe yalabye nga Masengere agenze n’akwata omwana nabulawo nga baamukwatidde ku ggeeti ng’abulako katono okufuluma ne bamukwata.

Abasawo baagenze okukebera mu nsawo ya Nankya baasanzeemu ddole gye yazze nayo nga bakira gy’abisse mu bugoye okwefuula asitudde bbebi.

Nankya yategeezezza nti yasooka nazaala omwana n’afa n’addamu n’afuna olubuto nga luno yagambye nti lwaviiriddemu mu ddwaaliro lino naye n’atabuulira basawo.

Yagasseeko nti Ivan Ssendijja omutuuze w’e Kayabwe y’abadde nnannyini lubuto ng’era abadde takimanyiiko nti olubuto lwavuddemu. “Omwana mbadde simubbye naye bano bagamba nti mmubbye bampaayiriza wadde musanze nfuluma ggeeti mbadde mutambuza ng’akaaba,” Nankya bwe yategeezezza nga bamukutte.

 dole ankya gwe yazze naye Ddole Nankya gwe yazze naye.

 

Nakyanzi yategeezezza nti bukya agenda mu ddwaaliro abadde talabanga ku mwana wa Nankya kyokka nga buli ku makya Nankya abadde agamba nti omwana yasuze amutawaanya kyokka tamubikkulako.

Nankya yatwaliddwa ku poliisi y’e Kawempe wakati mu kusika omuguwa n’abalwadde n’abajjanjabi abaabadde baagala okumukuba.

Muhamod Mutazindwa Loodi Kansala w’e Kawempe yalabudde abakyala abagenda okuzaala okugenda mu malwaliro n’abajjanjabi n’obuteesiga buli muntu.a

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’