TOP

Marima Ndagire awangudde engule

By Ponsiano Nsimbi

Added 11th November 2017

Marima Ndagire awangudde engule ya Pearl International Film Festival 2017

Ma1 703x422

Mariam Ndagire ng'alaga engule z'awangudde

OMUYIMBI era munnakatemba Mariam Ndagire awangudde engule bbiri mu mpaka za pearl Internatinal Film Festival(PIFF) 2017.

Empaka zino z'abadde ku National Theatre mu kiro ekikeesezza leero Lwomukaaga era nga zeetabiddwamu  ebibiina bya bannayuganda ebizannya firimu eby'enjawulo era Ndagire  yawangudde engule bbiri okuli eya Best Tv Dramer nga Firimu ye eyaba Aunt ye yamuwanguza ate naye ng'omuntu n'awangula engule y'okubeera Dayirekita wa firimu eyanywedde mu banne akendo.

Buli muwanguzi eyetabye mu mpaka zino yaweereddwa engule  wabula ye  Dayirekita wa PIFF Ronie Nkalubo yeebazizza bonna abeetabye mu mpaka zino  n'asuubiza okugenda mu maaso nazo.

Abawagizi abeetabye ku  mukolo guno obwedda buli bwe balangirira abazanyi baabwe ne Firimu zaabwe ku banguzi nga bakuba endulu okulaga essanyu lyabwe.

Ndagire yagambye nti empka nga zino zeziyamba abazannyi ba Firimu okwezuula n'okutereeza ensobi zaabwe ate n'okwongera okuyigira ku bannabwe ababa bawangudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte