TOP

Basimudde abafu emisana e Buziga

By Meddie Musisi

Added 13th November 2017

Abamu Ku batuuze basoose kudduka nga beetegula ekibabu olw’engeri abasajja bano gye baabuuse ku kabangali eyabatutte mu kifo kino.

Ntaana1 703x422

Poliisi ng’ekuuma abasimula amalaalo.

Bya MEDDIE MUSISI
ABATUUZE b’e Mawanga Buziga baasattidde abasajja abaabadde babagalidde ensuluulu n’enkumbi bwe baazinzeeko ekitundu kyabwe ne basimula amalaalo agasoba mu 10 emisana ttuku okuggyamu ebisigala!


Bino byabaddewo Lwakutaano mu maka g’omugenzi Ssaalongo Mukasa e Mawanga okumpi ne wooteeri ya Sudhir e Munyonyo. Bino byonna okukolebwa, abasajja bano baabadde bakuumibwa Poliisi kuba kigambibwa ettaka liriko enkaayana.


Abamu Ku batuuze basoose kudduka nga beetegula ekibabu olw’engeri abasajja bano gye baabuuse ku kabangali eyabatutte mu kifo kino.


Wabula oluvannyuma abatuuze baakomyewo okulaba ekyabadde kigenda mu maaso.
Abamu ku batuuze abakuze mu myaka baagambye nti kyabasusseeko okulaba ebyabadde bigenda mu maaso okulaba abasimula abafu ng’obudde tebunaziba!


Wabula Godfrey Kapalaga omuzukkulu mu maka gano era alina obuyinza ku ttaka lino yategeezezza nti ebyabaddewo yabikoledde mu mateeka oluvannyuma lw’okufuna ekiragiro kya Kkooti Enkulu mu Kampala ekimukkiriza okusengula abafu 14 abaaziikibwaawo.


Wabula ensonda mu kitundu kino zaategeezeza nti okusengula abafu bano, abazukkulu ba Mukasa baamaze kuguza mugagga ekifo kino n’abawa obukwakkulizo okusooka okusengulawo abafu bonna alyoke atuuke nabo ku kutegeeregana okusembayo ku by’ensasula.


Mu bamu ku bafu abaasimuddwa, kwabaddeko ne Stella Nagaya abadde yakaziikibwamu mu myezi mitono egiyise. Ebisigala byapakiddwa ku kabangali ne bitwalibwa e Buikwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente