TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi etaasizza agambibwa okuba ku babbira mu takisi

Poliisi etaasizza agambibwa okuba ku babbira mu takisi

By Eria Luyimbazi

Added 13th November 2017

POLIISI yataasizza omusajja eyabadde agajambulwa nga kigambibwa nti yabadde omu ku babbi abaabadde mu takisi mwe babbidde omukazi.

Katongolethief 703x422

Katongole omu ku baakwatiddwa.

Bya ERIA LUYIMBAZI
POLIISI yataasizza omusajja eyabadde agajambulwa nga kigambibwa nti yabadde omu ku babbi abaabadde mu takisi mwe babbidde omukazi.

Bino byabaddewo Lwakutaano abavuzi ba bodaboda bwe baagobye takisi nnamba UBA 402 E oluvannyuma lw’okulaba abaabaddemu nga basindikiriza omukazi okugifuluma ku kifuba ku luguudo lwa Nkurumah.

Aba bodaboda bwe baagigobye abaagibadde abaala baagibuuseemu n’esigala ng’etambula n’etomera mmotoka ya buyonjo nnamba UAT 587 A eyabadde evugibwa Ivan Arinaitwe.

Akulira ebikwekweeto ku poliisi ya CPS Ivan Nduhura yagambye nti wano aba bodaboda we baakwatidde Fred Katongole eyabadde asigaddemu ne batandika okumufuntula agakonde era poliisi n’eyanguwa okutuuka n’emutaasa.


Katongole yatwaliddwa ku poliisi ya CPS ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso nagulibwako omusango oguli ku fayiro SD:25/10/11/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga