TOP

Basimyesimye oluguudo lwa butafiibwako

By Musasi wa Bukedde

Added 13th November 2017

ABATUUZE bakutte enkumbi ne basima ebinnya mu luguudo ne baluziba nga bawakanya eky’abakulembeze obutalufaako.

Bisooto1 703x422

Abatuuze nga balinnye mu binnya bye baasimye mu luguudo.

Bya Mukasa Kivumbi

ABATUUZE bakutte enkumbi ne basima ebinnya mu luguudo ne baluziba nga bawakanya eky’abakulembeze obutalufaako.

Bagamba nti okumanya abakulembeze baabavaako, babakaabidde okumala ebbanga babazimbire oluzzi lwabwe olwaziba kyokka tebabafaako.

Ne bagattako nti, kati banywa mazzi ag’ebidiba ng’abatalina bakulembeze.

Baasimye ebinnya mu luguudo ne baziikulayo n’ebigoma era baalwonoonye ne luba nga terusobola kuyitamu mmotoka wadde bodaboda.

Oluguudo luno lwe luva e Kasubi, Kigenda, Busaabaga, Naakusubyaaki mu Division y’e Kawolo mu Disitulikiti y’e Buikwe kyokka nga lugenda okutuuka e Biafra, Seeta Nazigo okutuuka ku kkoolasi e Kogombya mu Disitulikiti y’e Mukono.

Abatuuze bagamba nti oluguudo luno lwakoma okulimibwa ne tulakita emyaka 20 egiyise.

Bagattako nti, wadde Gavumenti yabawadde amasannyalaze mu Divizoni y’e Kawolo, eky’oluguudo kikulu kuba n’atalina ssente zigula mmotoka alukozesa.

Sentebe wa Disitulikiti y’e Buikwe, Mathias Kigongo yagambye nti abatuuze okuva mu mbeera naye akiraba babadde bagumiikiriza naye ekizibu, babadde tebalina byuma bisobola kulima luguudo kuba tulakita gye baalina ebadde terusobola.

Yagasseeko nti baaguze tulakita empya okuva e Japan era oluguudo bagenda kululima wabula balinze ssente z’amafuta okuva e Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga