TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyavudde mu ddwaaliro n’agwa ku kkubo n'asattizza ab'e Lugogo

Eyavudde mu ddwaaliro n’agwa ku kkubo n'asattizza ab'e Lugogo

By Meddie Musisi

Added 14th November 2017

OMUKAZI eyagudde okumpi ne supamaketi ya Shoprite e Lugogo yasannyalazza emirimu mu kitundu abantu bwe baasooze okulowooza nti afudde.

Kola1 703x422

Omukyala ng’agudde ku kkubo

Omukazi ono eyategeerekese oluvannyuma lw’okwekebejja ebiwandiiko bye nti ye Asumin Lumba, munoonyi wa bubudamu.

Abamu ku bantu abaasangiddwa ku mukazi ono nga bamwekebejja baatageezezza nti yabadde ava ku ddwaaliro lya KCCA okumpi n’akatale ke Nakawa n’atafunayo bujjanjabi puleesa ne zimukuba.

John Ahimbisibwe avuga bodaboda mu kitundu kino yagambye nti omukyala ono yamulabye ng’ava mu ddwaaliro lino naye nga talina maanyi era yazzeemu okulengera ng’abantu bamukuhhaaniddeko oluvannyuma lw’okugwa.

Abamu ku bantu baakitadde ku keediimo k’abakozi bw’ataasanze basawo mu ddwaaliro.

Baasabye ensonga Gavumenti ezikwate na maanyi kuba abantu baayo era be bakosebwa.

Oluvannyuma lw’abantu okwekenneenya empapula z’omukyala ono ez’eddwaaliro, basobodde okukubira omu ku bantu be essimu eyajjidde ku bodaboda n’ategeeza nti aludde ng’atawaanyizibwa omugongo.

Omuvubuka ono yagambye nti bamutambuzza mu malwaliro agawerako kyokka nga babasaba ensimbi mpitirivu okusobola okumulongoosa ze batalina.

Oluvannyuma abasirakisa beesonzeemu ensimbi ne baziwa omuvubuka ono ne bapangisa sipensulo eyabatutte mu bitundu by’e Namuwongo gye yagambye nti gye babeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi