TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amelia yennyamidde lwa ssentebe wa NRM butawagira kugikwatako

Amelia yennyamidde lwa ssentebe wa NRM butawagira kugikwatako

By Paddy Bukenya

Added 14th November 2017

AMELIA yennyamidde lwa ssentebe wa NRM e Mpigi butawagira kukwata ku Ssemateeka.

Amaliangaayogeraekiringentemukwebuuzakubantu 703x422

Amelia nga yeebuuza ku balonzi be e Kiringente. EKIF: PADDY BUKENYA

Minisita w'ebyobusuubuzi n'amakolero era nga ye mubaka wa Mawokota North Amelia Kyambadde eggulo yakomekkerezza okwebuuza ku balonzi be ku by'okukyusa Ssemateeka naddala akawaayiro 102b ne yennyamira ku mubaka munne, John Bosco Lubyayi butawagira kukyusa nnyingo eno ate nga ye ssentebe wa NRM owa disitulikiti.

Amelia bwabadde akomekkereza okwebuuza ku balonzibe eKiringete mu Mpigi agambye nti wakutwala ebiteeso byabalonzibe byonna mu paliyamenti kyokka nagamba nti abasinga obunji bawagidde ekkomo ku myaka gya pulezidebnti okugyibwawo wadde nga asanzeemu okusomozebwa kwabavubuka ababadde basombebwa okuva mu bitundu ebirala nebakyankalanya enkiikoze.

Amelia yabadde Kiringente n'agamba nti kyennyamiza omukulembeze waabwe owa NRM okusimbira ekkuuli enkyukakyuka mu Ssemateeka naddala okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti n'agamba nti ye waakwanjulayo endowooza z'abalonzi ba Mawokota North ne Lubyayi ayanjuleyo endowooza y'abalonzi be aba Mawokota South.

Amelia yagambye nti abantu basinze kwemulugunya ku mbeera ya byabulamu, ebyenjigiriza n'ebbula ly'emirimu nti byonna waakubissa mu lipooti ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Reb2 220x290

Eyassa ekiti mu ssanduuke

Eyassa ekiti mu ssanduuke

Lip2 220x290

K- Palm beach abaagwa mu nnyanja...

K- Palm beach abaagwa mu nnyanja gye baali balaga okucakala

Kap1 220x290

Ssemaka abaana bonna 4 aviiriddemu...

Ssemaka abaana bonna 4 aviiriddemu awo

Dem2 220x290

Abaali aba Global Trust baagala...

Abaali aba Global Trust baagala kuliyirirwa bukadde bwa doola 80

Mab1 220x290

Musisi asiibudde mu sitayiro

Musisi asiibudde mu sitayiro