TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abavubuka mutondeewo emirimu mw'ebyo bye musomeredde - Mayiga

Abavubuka mutondeewo emirimu mw'ebyo bye musomeredde - Mayiga

By Dickson Kulumba

Added 14th November 2017

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga akubirizza abavubuka okubeera n’obumalirivu okutandika emirimu egiva mw'ebyo bye basomerera kubanga okutya okutandika nga balinda emirimu egiwedde kyongedde ebbula ly’emirimu n’obwavu.

Waga 703x422

Katikkiro Mayiga ng'ayozaayoza abayizi b'enju ya Kimera mu ssomero lya MUMSA High School e Mityana nga bano yabakwasizza engabo olw'okusinga enju endala okugula satifikeeti za Buganda. Addiridde Katikkiro ye Richard Ssebulime- Omuyima w'enju ya Kimera. Omukolo gwabadde Bulange- Mmengo nga November 9,2017.

Bino yabyogedde asisinkanye abayizi b’essomero lya MUMSA High School e Mityana nga bano baabadde n'okuvuganya mu 'nju' zaabwe mu baawakanidde ku nnyumba ki esinga okugula satifikeeti za Buganda.

Abayizi b'enju ya Kimera be baalidde empanga nga bano baaguze satifikeeti za mitwalo 80 kw'ezo 1,125,000/- ezaaguliddwa awamu.

“Ssabasajja Kabaka yasinzira ku ssomero lyammwe lyenyinni mu 2012 n'alagira abavubuka okutandika emirimu nga gisinzira kw'ebyo bye basomeredde. N’olwekyo kirungi abavubuka obutatya kutandika kintu era abaddukanya essomero lino mbasaba mukuume emunyeenye yaalyo ng’eyaka ng’akabonero k’abantu abamaliruvu okutandika ekintu awatali kutya kuba tubeenyumirizaamu,” Mayiga bwe yagambye.

Enju ya Kimera yasinze Jjunju, Kintu ne Bemba era bano Katikkiro yakwasizza omuyima waayo Richard Ssebulime n’omuyizi agikulira Malon Mulondo, engabo ne beeyama okwongera okuyigiriza abayizi omwoyo gw’okutoola, okutereka n’okwagala obuwangwa bwabwe.

Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki ne banne okuli Ssentongo ne Mawejje baatandika MUMSA High School nga baakamaliriza emisomo gyabwe mu 2002 wakati mu kusoomoozebwa era Kawuki yategeezezza nti bafuba okutendeka abayizi baabwe ebyo bye basuubira kwe balitambuliza obulamu bwabwe nga tebasudde bya buwangwa.

Omukolo guno gwetabiddwako omuwanika w’oukiiko olufuga essomero lino, Charles Byekwaso Ssali era abayizi bazze n’enkota y’ettooke n’enkoko ne babitonera Katikkiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...