TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Moses Kayiira akoze emmotoka endala n'agituuma Uganda 2

Moses Kayiira akoze emmotoka endala n'agituuma Uganda 2

By Moses Lemisa

Added 15th November 2017

Moses Kayiira akoze emmotoka endala n'agituuma Uganda 2

Ka1 703x422

Emmotoka ya Kayiira empya gyeyatuumye Uganda 2

MOSES  Kayiira makanika ku Galagi ya bakayiira Diesel garage ku luguudo lwe Saalama era ng'ayaddamu ebibuuzo ebikwata ku bidduka mu Bukedde buli Lwakuna   yasooka n'akola mmotoka gye yatuuma Uganda 1 nga kati akoze Uganda 2 egenda kutongozebwa ku  Muganzelwazza .

 KAYIIRA YANI

Kayiira  yazaalibwa 11/September 1978  omukyala  Magarate Nassali n’omugenzi  Lokoboawamu Nyanzi mu Disitulikiti  ye  Rakai ku kyalo Kiganda kooki mu Ggombolola ye Rwanda wabula ng'obuyigirize bwe yakoma mu p7    era mu  2008  yafuna omukisa  n'agenda   mu Tendekero lya Black Burn College mu Bungereza  erisomesa okukola mmotoka ng’eno gye yaggya obwongo obukola mmotoka obwakola Mmotoka eyasooka ne y’okubiri gy'atuumye UGANDA 2 .

Alina etendekero eriyigiriza okukanika erya Bakayiira diesel Garage and youth technical training academy  erisangibwa ku luguudo lwe Saalama , okuli okufuyiira ¸okugoloola , wayairingi , okusiba yingini Ssaako n’emirimu gy’omutwe, n’abavudde mu masomero bayigirizibwa Practical

 EBIKWATA KU MMOTOKA

Mmotoka eno  yagitandika mu 2016 nga  ya Manuel , sipiidi Mita ekoma ku 160 , ekozesa amafuta ga petulooli , ya CC 1.6 , Ttanka yaayo ya liita 65 , ekozesa amasannyalaze ga Volts 12 , Buli kiromita 20 enywa liita y’amafuta  emu okuva  e Kampala okutuuka e Ntebbe enywa liita biri , eyambala emipiira size 16, mu maaso watulaayo abantu babiri , emabega waayo osobola okusaaayo ebintu kuba eringa pick up  , erina GPS akuuma kokozesa okukulagirira gy’olaga  ,  erina Radio, Ac , bw'eba erina ky'e fudde nga kyamasannyalaze okusobola okukozesa Kompyuta  okuzuula ekirwadde , ekozesa Battery ya N50 , olumu esikira esikira mumaaso n'emabega
ekigiyamba okutambulira ku nguudo z’a Uganda ezijjudde ebinnya n’obuseerezi , Erina akuuma ka Tracking nga bweba ebiddwa osobola okugizuula .

 Ekyenjawulo ekigiriko bwoba oli munda mu mmotoka eno  tekyetagisa kubba n'assimu okozesa ya Mmotoka , essimu ne bwogireka awaka buli akukubira ku ssimu ya mu mmotoka ne Face Book , Watts up byonna obifunira mu mmotoka saako n’okulikondinga ebiba mu nguudo gy’oba oyise .

alt=''

 YAKOZESEZZA EBYUMA BYA NSI SSATU

Mulimu ebya Japan  okuli   cariburetor,  Shock buzooba ,Side Mirrors Wipers  ,  emipiira  n’amanda.France ;  Mulimu coil wire  , Radiator ,Uk  mulimu    fly wheel ,pressure, clash,Germany   mulimu  bulooka , cylinder head n’amataala, ebya Uganda mulimu Frame Pipes  zaakolebwa mu Roofings saako  n’amabaati  agakoze Body nago ga  roofings, side covers ,bampers, dash board, cancel box, Sadolin  langi, Emitto
gyakolebwa bakayiira ne ,enzigi ne design , Endabirwamu  ze Chaina,
Radio ya Thailand

ABAKOZE EMMOTOKA ENO NE KAYIIRA BANNYONNYODDE

Daniel Mugenyi  omukugu mu wayalingi :Wayalingi mukulu nnyo ku mmotoka kuba w’okoleramu ensobi mmotoka esobola okugaana okuva mu kifo  oluusi bw'ogatta obubi waya mmotoka esobola okukwata omuliro. Battery gye mbadde nkozesa okukola wayalingi ebadde y’amaanyi nnyo kuba y’e nsibuko y’amasanyalaze.


Byonna mbadde mbikola naye nga nkolera wansi wa Kayiira kyandagira kye nkola era mmotoka nasobodde okugikola ng’erina woteeka kompyuta n’ogikebeera singa eba efudde n’ebirala kuba kati mmotoka esobola okutuuka  mu buli kitundu kya ggwanga .

Kayiira akubirizza abavubuka bonna okujjumbira emirimu gy’ommutwe ne Government okuvaayo okutukwasizaako okulaba nga workshop bagifunira ebikozesebwa ebirungi kiyambeko n'okulwanyisa ku bbulw ly'emirimu mu bavubuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...