TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Mnangagwa, eyabadde afuumuddwa Mugabe kati y'awa ebiragiro

Mnangagwa, eyabadde afuumuddwa Mugabe kati y'awa ebiragiro

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2017

Emmerson Dambudzo Mnangagwa 75, we bwazibidde nga kigambibwa nti y’awa ebiragiro ku buli ekigenda mu maaso.

Vuga 703x422

Emmerson Dambudzo Mnangagwa ng'ali ne mukazi we

Emmerson Dambudzo Mnangagwa 75, we bwazibidde nga kigambibwa nti y’awa ebiragiro ku buli ekigenda mu maaso.

Yavudde e South Afrika gye yabadde yeewogomye n’akomawo mu Zimbabwe eggulo.

Mnangagwa eyakazibwako erya “Ggoonya’ nga y’omu ku baazirwanako mu lutalo olw’ekiyeekera y’abadde omumyuka wa Pulezidenti wa Zimbabwe okuva mu 2014 kyokka Mugabe yamukutte ku nkoona ku Mmande ya wiiki ewedde ng’amulumiriza okuluka olukwe olw’okuwamba obuyinza.

Ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde Mnangagwa yadduse mu Zimbibwe, ekiwejjowejjo South Afrika gye yasinzidde okuwera nti agenda kudda essaawa yonna atereeze ebisobye mu bukulembeze bwa Zimbabwe era bwatyo yakomyewo eggulo ku Lwokusatu nga yatuukidde ku kisaawe ky’ennyonnyi eky’amagye ekiyitibwa Manyame Air Force Base n’ayanirizibwa mu bitiibwa by’amagye ebijjuvu.

ABAZIRWANAKO BAMUVUDDEMU

Abaazirwanako mu lutalo lw’ekiyeekera nga bano Mugabe kw’abadde afugira emyaka 37, baawagidde amagye okumuwamba ne bagamba nti abadde akaddiye nga tekyali mu mitambo.

Ssentebe w’ekibiina kyabwe, Chris Mutsvangwa yatuuzizza olukun'gaana lwa bannamawulire ne banne ne bayozaayoza Gen. Constantino Chiwenga olw’ekikolwa ky’amagye okuzza Zimbabwe ku mulamwa n’egiggya mu mikono gy’abatamanyi Zimbabwe gye yava ne gy’ebadde egenda.

Mu kino baabadde balumba Grace mukazi wa Mugabe gwe bagamba nti kumpi y’abadde afuga nga ky’agamba bba, tekiddibwamu.

Mutsvangwa baali basemba Mugabe adde ku bbali asobole okuwummula mu mirembe, omuntu omulala alondebwe okumuddira mu bigere okutwala Zimbabwe mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....