TOP
  • Home
  • Busoga
  • Owa NRM bamugobye lwa butasemba kuggya kkomo ku myaka

Owa NRM bamugobye lwa butasemba kuggya kkomo ku myaka

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2017

Omukungu ku kitebe kya NRM e Kamuli awakanya okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti bamukutte ku nkoona era g'akaaba g'akomba

Sanubi1 703x422

Namusisi ng’akaaba oluvanyuma lw’okugobwa.

Bya TOM GWEBAYANGA

Omukungu abadde akola guno na guli  ku kitebe kya NRM e Kamuli, Sanubi Namusisi  akaabye aga julujulu, ebikonge bya bya NRM bwe bimunaabidde mu maaso n’agobwa ku mulimu ng’entabwe evudde ku kuwakanya okuggya ekkomo ku myaka.

Mu lukiiko olw’attudde ku Lwokutaano olwabaddemu ebikonge by’oku ggwaandiikiro lya NRM e Kampala, abaalubaddemu bassizza kimu ne bagoba Namusisi lwa kusiiwuuka mpisa.

Ono y’abadde ategeka okulonda kw’akamyufu, omulimu gw’amazeemu emyaka egikunnukiriza mu 20, mw’aggye n’obugagga  okuli ennyumba ey’ebbeeyi, ettaka, emmotoka ya buyonjo ne takisi, nga n’abaana be basomera mu masomero ga bbeeyi.

Abadde  atalaaga enkung’aana  ababaka  ze babadde bakuba okwebuuza ku bantu ku kkomo ku myaka, kyokka nga buli w’atuuka asaasaanya enjiri nti wadde wa NRM kakongoliro, tawagira kuggya kkomo ku myaka.

 Kino yakikola e Balawoli Bugabula North, bwe yalangirira nti,  “Siwagira kuggyawo kkomo, kuba kijja kuttattana emikisa gy’abalala , nga Sipiika Kadaga okuvuganya kubwa Pulezidenti.”

 Kino ky’anyiiza Kizige n’ayomba nga bw’amubuuza ekimuwaga okuvuluga ekibiina ekimuleze  emyaka n’okumugaggawaza.

 Wabula Namusisi yagambye nti eky’okumugoba tekimuyiggude ttama, waakugenda mu maaso n’ensonga ye, nti olukwe Kizige ye yaluluse.

Olukkiko lw’abaddemu RDC, Moses Ddumba, Ssentebe wa NRM, Samuel Bamwole n’abakungu b’oku ggwaandiikiro lya NRM.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nant 220x290

Oluyimba ‘Tukigale’ lutabudde Carol...

Omuyimbi Carol Nantongo atabukidde Rachael Namiiro okuyimba oluyimba lwe olwa 'Tukigale' nga tamuwadde lukusa....

Dha 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...