TOP

Ettaka litabudde omukungu wa UNEB n’omutuuze

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2017

Kkooti eragidde okuddamu okupima ettaka erikayaanirwa Charles Ssembatya omukungu mu kitongole kya UNEB ne Hussein Zziwa omutuuze w’e Kanyana

Kanyanya2 703x422

Omupunta(ow'okubiri ku kkono) ng'alaga Zziwa amuddiridde ddyo ne banne ebyavudde mu kupima ettaka ate mu katono ye Ssembatya.

Bya REGINAH NALUNGA

EBY’ETTAKA erikaayanirwa Charles Ssembatya, omukungu mu kitongole ky’ebigezo (UNEB) ne Hussein Zziwa omutuuze w’e Kanyana mu Quarter zooni mu ggombola y’e Kawempe tebinnaggwa!

Ssembatya talabiseeko enkya ya leero mu nteekateeka ekoleddwa okussa mu nkola ekiragiro kya kkooti eky’okuddamu okulipima ekitabudde Zziwa ne b'abadde nabo ne basalawo okugenda mu maaso n’okupima oluvannyuma bagenda kubuulira kkooti ebivuddeyo.

Kino okukolebwa kyaddiridde Moses Kasasa omutabaganya mu kkooti ey'ettaka enkulu etuula ku Twed Towers okulagira Zziwa, bbulooka w'ettaka, Ssembatya ne mukyala we Annet Ssembatya baddemu okupima ettaka erikaayanirwa erisangibwa e Kanyanya mu Quarter zooni ku block 210, poloti nnamba 1640 ne block 210, poloti nnamba 1985 bafune ebipimo ebituufu olwo omusango gutandike  okuwulirwa.

Zziwa ategeezezza nti ettaka erikaayanirwa eriri ku bugazi bwa desimoolo 22, lyali lya  mugenzi  Hajji Yusuf Mutenda kyokka bwe yafa ne lidda mu mikono gy’abaana be okuli ne Asuman  Kazibwe Kabuzubwe (taata wa Zziwa) naye eyafa olwo Hadijah Nannyonga, omu ku booluganda (Ssenga wa Zziwa) kwe kuliguuza Charles Ssembatya.

Zziwa annyonyola nti, Nanyonga mu kuguza Ssembatya ettaka, yatundiramu n’omugabo gwe ne baganda be era wano we waava Ssembatya okuloopa  Zziwa ne banne mu kkooti ng’abalanga okusalimbira ku ttaka lye yagula.

Abasirikale okuva ku poliisi  y’e Kanyanya, abakulembeze b’ekitundu nga bakulemeddwamu ssentebe, Paul Lubwama, Baker Matovu looya w'abawawaabirwa (ba Zziwa) okuva mu Mayanja Nakubuule and Co.Advocates be bamu ku babaddewo nga abajulizi ng’okupima ettaka kukolebwa.

Omusango gutandika okuwulirwa nga November, 20 2017.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup