TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muka Mugabe bamulemesezza okugenda e South Africa

Muka Mugabe bamulemesezza okugenda e South Africa

By Musasi wa Bukedde

Added 17th November 2017

Okuva mu 2000, Grace azze yezza ebikumi n’ebikumi bya yiika z’ettaka eryagobwako Abazungu.

Grace1 703x422

Grace Mugabe

MUKYALA wa Mugabe gakyamwesibye e Namibia gy’ali. Entegeka z’okusala ensalo ayingire South Africa zikyagaaniddwa ekyongedde okumutunduzza omutima wamu n’abaana be abasatu be yadduse nabo.

Grace Mugabe 52, mu kudduka ekibabu ekiri e Zimbabwe yasoose kugezaako kuyingira South Africa wabula ne bamutegeeza nti ensonga ze zikyetaaga okwetegerezebwa abakulu mu gavumenti kubanga si muntu wa bulijjo.

Baamuwadde amagezi asooke yeewogome e Namibia nga bwe bakola ku nsonga ze kyokka ensonda mu gavumenti ya South Africa zaategeezezza bannamawulire e South Africa nti baabadde batwaliriza budde kubanga tebandyagadde kweriraanya mukazi oyo.

Ku makya g’Olwokuna, emikutu gy’amawulire egy’enjawulo e South Africa gyategeezezza nti Grace yagezezzaako okuddamu okusaba akkirizibwe ave e Namibia ayingire e South Africa wabula era abakulembeze ne bamutegeeza nti ensonga ze zikyeteegerezebwa.

Grace alina bizinensi n’amayumba agawerako mu South Africa naddala mu kibuga Johannesburg era ebadde nkola ye okwesitula n’abaana be ne bawummulirako e South Africa.

Kigambibwa nti abakulembeze okusimbira ekkuli eky’okuwa omukazi ono obubudamu beesigama ku mivuyo gy’azze akola naddala eky’okukuba omuwala w’e South Africa ayolesa emisono Gabriella Angels 20, gwe yakuba mu August w’omwaka guno bwe yamusanga nga yeerigoosolera ku mutabani we mu kasenge ka wooteeri.

Ebifo ebirala we yandyagadde okuddukira kuliko Dubai gy’alina ekizimbe wabula nayo tebinnayitamu.

 atabani ba ugabe ku mukolo ogumu Batabani ba Mugabe ku mukolo ogumu.

 

ABADDE YEEJALABYA

Grace 'Gucci' Mugabe, mukazi abadde ng’alina bbanka ya ssente awaka mw’atoola n’akola buli kye yali alowoozezzaako mu bulamu.

Abantu babadde bamanyi bitono ku nsasaanya ye okutuusa jjuuzi bwe yagenyiwaddeko e South Afrika n’apacca modo, Gabriella Engels oluyi era amawulire ago gaatunze nnyo mu South Africa ne baleeta ne bwino mungi ku Grace n’abaana be abali e South Africa.

Okufaananako nga Munnayuganda, Bad Black bwe yali tannayavuwala ng’akuba abantu n’abasasula, Grace naye yabuuza gwe yakuba ky’ayoya.

Olupapula lwa The Star e South Africa lwalaga ensaasaanya y’omukyala oyo n’abaanabe ewuniikiriza.

Abaana, Robert Junior ne Bellarmine Chatunga, bapangisa ennyumba mu kibuga Johannesburg gye basasula ddoola 15000 buli mwezi mu za Uganda 54,000,000/-.

Mu kibuga ky’ekimu ku kyalo Sandton, amawulire ago galaga nti, Grace bwe yanyiiga olw’okumugobera abaana mu nju, n’asalawo abagulire ennyumba mu bitundu ebyo ku doola 3,500,000 mu za Uganda obuwumbi 12 n’obukadde 600.

Grace eyaddukidde e Namibia okuwona ekibabu ky’okuwamba bba, ayagala kugenda South Afrika wabula eggwanga eryo likyagaanyi okumukkiriza kyandiba nga kyekuusa ku nsonga ng’ezo.

 nnyumba race ugabe gyabadde apangisiza batabani be e outh frica Ennyumba Grace Mugabe gy’abadde apangisiza batabani be e South Africa.

 

Kigambibwa nti alina n’amayumba amalala mu kibuga Harare ekya Zimbabwe.

Okuva mu 2000, Grace azze yezza ebikumi n’ebikumi bya yiika z’ettaka eryagobwako Abazungu. Grace yali muwandiisi wa Mubage n’amwezza mukaziwe omukulu Sally Hayfron ng’afudde.

Bba wa Grace, Stanley Goreraza gw’alinamu omwana omu yasigala ku bitaala nga yemagaza.

Abadde akozesa n’essente z’ekibiina kya ZANU-PF nga babalirira nti, abadde yaakakiggyamu obukadde bwa doola 26 ng’asinga kuzigulamu bya kwambala, kucakala, kuzimba mbiri n’amayumba mu mawanga ag’enjawulo omuli China, Zimbabwe, Malaysia n’amalala.

Muwalawe, Bona Mugabe yasomeranga mu City University e Hong Kong era nnyina olumu yamukyalirako ne bagendako mu maduuka okugula ku bintu ne bavaayo nga basaasaanyizza ddoola 120,000 mu za Uganda obukadde 432.

 atabani ba ugabe race bazaala u kkono ye ellarmine ugabe ne obert ugabe nr Batabani ba Mugabe, Grace b’azaala. Ku kkono ye Bellarmine Mugabe ne Robert Mugabe Jnr.

 

Mu 2004, bbanka ya Zimbabwe enkulu yamuwaayo pawundi obukadde butaano yeetereeze.

Buli w’agenda ab’amawulire babadde bamugoberera nnyo era olumu yakuba omukubi w’ebifaananyi, Richard Jones e Hong Kong mu 2009 ekikonde, empeta ze yali ayambadde ne zimuleetako ebisago kyokka China eyalina okumuvunaana teyakikola olw’okuba mukazi wa mukulembeze wa ggwanga.

Yeezimbidde amasomero ag’ebbeeyi omuli Mazoe High School ne Grace’s Amai High School ng’eryo yategeeza nga bw’alizimbidde abantu ba bulijjo kyokka ng’olina kusasula ddoola 3,500 ttaamu, mu za Uganda 12,600,000/- Abadde atandise okuzimba yunivasite n’eddwaaliro.

Alina ffaamu y’ente, ekyuma ky’amata nga kino kikye ne Mugabe era kigambibwa nti kye kisinga okuba ku mulembe mu mawanga g’amaserengeta ga Africa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.