TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnaalongo ekitambo kimulinnye nalumako munne omumwa

Nnaalongo ekitambo kimulinnye nalumako munne omumwa

By Musasi wa Bukedde

Added 17th November 2017

“Yantegeezeza nti bwemba simuwe ennyama agenda kulyamu nze bwatyo nambukira nankutulako omumwa nagulya” Twonjirwe bwategeezeza.

Mimwa1 703x422

Bya FLORENCE TUMUPENDE

OMUKAZI atawena alinnyiddwa ekitambo nakakkana ku mumwa gwa munne
kwossa ne mu kyenyinabikutulako nabirya!

Nnalongo Lilian Atwiine 35 omutuuze mu Kanaakulya Zone mu kabuga
k’e Kyazanga mu disitulikiti y’e Lwengo yawunikirizza ekyaalo
bwakakkanye ku munne Annet Twonjirwe 30 namulumako omumwa gwa wansi ne
mukyenyi ebitundu byonna nabirya.


  GWE BALUMYE AYOGEDDE
Zaabadde ssaawa 6:00 ez’ekiro nempulira omuntu ampita nti Annet
nzigulirawo.  Kwekumubuuza nti gwani ampita essaawa zino? Yanzizeemu
nti nze Nnalongo.   

Nnagguddewo eddirisa ne mu kubamu ttooci nga yenna amyuse amaaso
nantegeeza nti ekyokugulawo eddirisa tekimuyamba kuba afunye ekizibu
nange kwekumugulirawo oluggi.

Amangu ago yankutte ku mukono nangamba nti Annet njagala nnyama
era nga tasalikako musale.  Namubuuziza nti essaawa eno ennyama ngenda
kugijawa.
  “Yantegeezeza nti bwemba simuwe ennyama agenda kulyamu nze bwatyo
nambukira nankutulako omumwa nagulya”   Twonjirwe bwategeezeza.

Wabula asabye poliisi okunyweeza omutemu amulekedde obulema
nasaba n’abazira kisa bamuduukirireyo n’obuyambi asobole okutwalibwa
mu ddwaliro eddene.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Sarah Mbabazi bategeezeza nti
Nnalongo aliko omukazi gwe bayita Kaitesi ow’e Lyantonde  gwe yasaba
ennyama mu budde obwekiro namuwa kiro yennyama embisi yonna nagirya kye
bagambye nti alabika musezi.  

Ye ssentebe w’ekyalo kino Kalifani Zaabasajja aweze nga bwagenda
okugoba Nnalongo Atwiine ku kyaalo kye singa aba amazeeko obusibe.

Poliisi y’e Kyazanga ng’ekulembeddwamu omuduumizi waayo Tim
Rwonthongeyo alabudde abantu okuba abegendereza ku bantu awamu
n’okwewala okugguliranga abantu mu budde obwekiro. 

Omukwate aguddwako omusango gw’okutuusa obulemu ku muntu ku Fayiro
Namba CRB 112/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...

Abapangisa aba boda ne babatta...

Omu bamutuze omulambo ne bagwokya mu maaso