TOP

Ebbula ly'amazzi lyeraliikirizza ab'e Nakifuma

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2017

Ebbula ly'amazzi lyeraliikirizza ab'e Nakifuma

Lob1 703x422

Ezimu ku Naikondo ezoogerwako okubeera enfu

Bya Amon Mukasa

ABATUUZE b’e kasawo mu Ssaza ly’e Nakifuma mu Disitulikiti ye Mukono bali mu katyabaga oluvannyuma lwa  Naikondo zaabwe  ezabaweebwa ekibiina kya World Division okufa nga kati emyezi giweze ena nga amazzi bakozesa g'abidiba.

Bano bagamba nti bali mu bweraliikirivu okufuna obulwadde obw'ekuusa ku bucaafu olw'ensonga nti mu kiseera kino amazzi gebakozesa n'ente ze ganywa ate nga galimu n'eddagala erifuuyira ebirime ng'ebikajjo n'ebirala.

Ebyalo  ebikyasinze okukosebwa kuliko Abdul kikomeko  kibamba, Buyuki, kigogola, Nsanvu, kateete ,kisonzi n'ebirala.

Ssentebe w'ekyalo kisonzi Abdul kikomeko ategeezezza  nti ekyalo kiramba kati tekuli kyali Naikondo n'emu ekola oluvannyuma lw'okumala ekiseera nga zifudde kati kyebasigazza kwekukozesa amazzi ag'omubidiba kyokka nago okugafuna batindigga lugendo olw'ensonga nti enzizi ezaali zikozesebwa mu kitundu abalimi b'ebikajjo baaziziba dda.

"Tusaba abazira kisa bonna abasobola okutuyamba baveeyo batudduukirire ku kizibu kubanga n'essente zennyini ez'okunoonya amazzi amayonjo tetuzirina toyinza kunoonya ssente z'akugula kawunga ssaako n'enva ate ogatteko okugula amazzi"Bwatyo Ssentebe bw'ategeezezza. 

Oluvannyuma lwa ssentebe okuwanjagira abalina obusobozi okubadduukirira, Fred Simbwa w'aviiriddeyo n'addaabiriza Naikondo bbiri ku kyalo Kisonzi ezisangiddwa nga n'ebyuma by'ali byabbibwaako era wano w'asinzidde n'asaba abatuuze okwekolamu obukiiko bw'ebyalo bakole bulungibwansi basobole okukuuma Naikondo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...