TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nkozi etikkidde abayizi 1200 Ssekandi n'abasaba okubeera abakozi abalungi

Nkozi etikkidde abayizi 1200 Ssekandi n'abasaba okubeera abakozi abalungi

By Muwanga Kakooza

Added 19th November 2017

Nkozi etikkidde abayizi 1200 Ssekandi n'abasaba okubeera abakozi abalungi

Kub1 703x422

YUNIVASITE y'eNkozi etikidde abayizi 1200 ku mukolo omumyuka wa Pulezidenti Edward kIKiwanuka Ssekandi kw’asinzidde okusaba abatikiddwa okukozesa obukugu bwe bafunye okukyusa ensi yaabwe efuuke ey'omulembe ogweyagaza bannansi.

Guno gubadde mulundi gwa 23 nga yunivasite eno etikkira abayizi. Omukolo gubadde ku kitebe kyayo ekikulu e Nkozi okumpi n’e Kayabwe ku lw’e Masaka.

Abayizi 90 baafunye diguli ey’okubiri (masters),700 ne bafuna diguli ezisooka ate abalala baabadde  bba  dipuloma.

Asabye abantu okweyambisa entegeka za gavumenti ng’ez’okuwa abavubuka ‘’entandikwa’’ ezimanyiddwa nga ‘’Youth Livelihood Programme wamu n’eza bonna baggaggawale,ez’okutumbula abakazi n’endala okwekulakulanya.

Asiimye Klezia olw’okutandika yunivasite eno etekomye ku kuyamba kunyweza bya mwoyo byokka kwokka wabula n’okuyamba gavumenti okutuusa obuwereza ku bantu.

Yunivasite eno yakafulumya abayizi 16,000 n’agamba nti engeri gye yimiriddewo ku musingi gw’eddiini kijja kuyamba eggwanga okufuna abakozi abalina empisa.

Agambye nti gavumenti essa essira ku kutumbula eby’okusoma mu matendekero mu kaweefube w’okufuula Uganda eggwanga eggagga mu bbanga eritali ly’ewala.

Cansala wa yunivasite omusumba John Odama asabye abatikiddwa okuwereza abantu awatali kubasosola  n’abasaba okuba eky’okulabirako eri ababala nga beewala enguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana