TOP

Mukyala wa Mugabe asiiba akaaba

By Musasi wa Bukedde

Added 20th November 2017

Okwawukanako n’amawulire agaali gasaasanyiziddwa abamu ku baali mu misoni y’okuwamba nga galaga nti Grace n’abaana baddukira mu Namibia; abakungu mu Zimbabwe baakakasizza nti ali mu nnyumba ya bba wabula ali mu kutya ku kiyinza okumutuukako n’abaana be.

Guccigrace1 703x422

Grace Mugabe abadde mwambazi ate nga bba atambulira ku ntoli ze.

HARARE, Zimbabwe
GRACE Mugabe, mukazi wa Pulezidenti Robert Mugabe akyagaanyi okulabikako mu lujjudde nga kigambibwa nti asiiba yeesibidde mu kisenge akaaba.

Okwawukanako n’amawulire agaali gasaasanyiziddwa abamu ku baali mu misoni y’okuwamba nga galaga nti Grace n’abaana baddukira mu Namibia; abakungu mu Zimbabwe baakakasizza nti ali mu nnyumba ya bba wabula ali mu kutya ku kiyinza okumutuukako n’abaana be.

Omukutu gwa Daily Mail gwategeezezza nti okuva lwe baabawamba, omukazi yatandika okwegayirira ng’atya nti bayinza okumutta olw’abalabe abangi b’abadde alina nga kiva ku ngeri gy’abadde atyoboola buli eyeegwanyiza obukulembeze nga mu b’abadde alengezza mulimu ne Bagenero abaabadde mu misoni eyawambye.

Ng’oggyeeko Mugabe gwe bakyawa ku kitiibwa, kigambibwa nti amagye tegalina kisa ku mukazi era waabaddewo okusika omuguwa ng’abamu ku Bagenero baagala omukazi aggyibwe mu maka ago atwalibwe mu kkomera nga balowooza nti yandiba nga yakyalemesezza Mugabe okusoma ekiwandiiko ekirekulira.

 bantu baatandika ku wokutaano okwekalakaasa era tebannakkakkana Abantu baatandika ku Lwokutaano okwekalakaasa era tebannakkakkana.

 

Baagala n’okumusuuza eby’obugagga naddala ebizimbe bye yagula mu nsimbi z’abadde anyaga mu Gavumenti.

Omukutu gwa Bulawayo 24 News gwategeezezza nti okwogeraganya wakati wa Mugabe ne mukazi we, Bagenero baakusazeeko era baabaawudde nga buli omu ali ku ludda lulwe.

Ennyumba mwe bali eyamalawo obukadde bwa Paawundi musanvu n’ekitundu (mu za Uganda obuwumbi 36) erimu ebisenge 25 era enju yonna kati yeetooloddwa magye.

Amagye gaategeezezza nti Mugabe bw’anaaguguba okusukkawo bagenda kuleka abantu abayisa ebivvulu ku mulyango ogugenda ewuwe, bamutuukireko ddala.

 bakungu ba   abaagobye ugabe ne mukazi we race Abakungu ba ZANU PF abaagobye Mugabe ne mukazi we Grace.

 

Mu kiseera kino abajaasi be batangira abantu abali mu nkumi n’enkumi abayimba “Mugabe agende” nti baagala “Ngwena” (erinnya lye baakaza ku Emmerson Mnanganwa eritegeeza “Ggoonya”) gwe baagala afuuke Pulezidenti ow’ekiseera.


Ensonda mu ba famire ya Mugabe zaategeezezza nti okuva ku Lwokusatu oluwedde, Grace Ntombizodwa Mugabe 52, yeesibira mu kimu ku bisenge mu nnyumba Blue Roof era abeera mu maziga!

Amawulire ag’ennaku mu bulamu bwa Grace ne bba Grace gajjira kumukumu. Baasoose kubabikira Minisita omubeezi ow’ebyobulamu Aldrin Musiwa eyafudde ate ng’abadde muntu waabwe nnyo agambibwa nti yafudde bulwadde bwa nsigo.

 agenero eggulo bazzeeyo okumatiza ugabe mu ttaayi ave mu ntebe sooka ku ddyo ye hiwenga Bagenero eggulo bazzeeyo okumatiza Mugabe (mu ttaayi) ave mu ntebe. Asooka ku ddyo ye Chiwenga.

 


Mu kiseera kyek imu ne mutabani wa Grace gwe yazaala mu bufumbo obwasooka Russel Goreraza kkooti n’emumma olukusa okwawukana ne mukazi we Gladys.

Omukazi ono takwatagana na Grace era kigambibwa nti y’eyawa mutabani we amagezi agagenda mu kkooti ebaawukanye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...