TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde adduumira flying squard e Mukono afiiridde mu kabenje nga bagoba ababbi e Katosi

Abadde adduumira flying squard e Mukono afiiridde mu kabenje nga bagoba ababbi e Katosi

By Henry Nsubuga

Added 20th November 2017

Abadde adduumira flying squard e Mukono afiiridde mu kabenje nga bagoba ababbi e Katosi

Kit1 703x422

Muhoozi afiiridde mu kabenje e Katosi

ABADDE aduumira poliisi ya Flying squad mu divizoni ya poliisi ey’e Mukono afiiridde mu kabenje ku luguudo oluva e Kisoga okugenda ku mwalo e Katosi.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emirian Kayima akakasizza akabenje kano n’agamba nti omusirikale omu yakafiiriddemu abalala ne basimattuka n’ebisago.

Kayima ategeezezza nti omugenzi ye David Rwego Muhoozi abadde aduumira poliisi ya Flying Squad mu divizoni y’e Mukono.

Abapoliisi baabadde batambulira mu mmotoka ya buyonjo eya Muhoozi nnamba UAT 219Q ekika kya Ipsum nga mwe babadde bagobera ababbi.

Abasirikale abalala abaabadde mu kabenje kano kuliko; Julius Ssebbaale, Alex Nantamu, Sam Asiimwe, Emmanuel Abbey n’omulala eyategeerekeseeko erya George lyokka nga bano baalumiziddwa era ne baddusibwa mu malwaliro ng’embeera yaabwe si nnungi.

Robinson Kiyaga, ssentebe w’eggombolola y’e Ntenjeru agambye nti emmotoka y’ababbi abasirikale baabadde bagikubye amasasi ng’emipiira gyabise ng’etambulira ku mpanka.

Kiyaga annyonnyodde nti ddereeva abadde avuga aba poliisi emmotoka emulemeredde n’eva ku kkubo n’etomera ekikonge ky’omuti gw’omuvule ne yefuula.

Omulambo gwa Muhoozi guteekeddwa ku kabangali ya poliisi ne gusooka gutwalibwa ku poliisi e Mukono banne gye baamutunuuliddeko nga n’abamu baalabiddwa ng’amaziga gabayitamu.Oluvannyuma kabangali ya poliisi eguvuze n’egwongerayo mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okwekebejjebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...