TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti egobye omugagga okutwala ekizimbe kya Katatumba

Kkooti egobye omugagga okutwala ekizimbe kya Katatumba

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2017

Kkooti egobye omugagga okutwala ekizimbe kya Katatumba

Jub1 703x422

Angella Katatumba nga yeebaza Katonda.

AKULIRA abalamuzi ba kkooti ento e Makindye, Elias Kakooza agobye okusaba kw’omugagga nnannyini kkampuni ya Shumuk mw’abadde ayagala okugobaganyiza abaana b’omugenzi Bonney Katatumba okuva mu wooteeri ya Hotel Diplomatic e Muyenga.

Mukesh Shukla yatwala okusaba kwe mu kkooti ng’ayagala eyise ekiragiro eri abaana b’omugenzi Katatumba okuli; Angella Katatumba ne Birigwa Katatumba okwamuka wooteeri nti kubanga yali yagula ekizimbe kyayo.

Mu mpaaba ye, Shukla agamba nti ekifo ekyo yakigula mu 2008 okuva ku mugenzi Katatumba kyokka ng’agezezaako okulagira abaana be abakiberamu okukivaamu, bagaanyi wadde nga April 17, 2015 baali bakkiriziganyizza ne Katatumba okukimuwa kyokka n’afa nga tannakivaamu.

Angella Katatumba yategeezezza nti, Shukla by’agamba si bitufu kubanga omulamuzi Henry Peter Adonyo owa Kkooti Enkulu mu 2009, yasalawo nti ekifo kyali kya mugenzi Bonney Katatumba. Shukla olw’obutamatira na nsalawo, yaddukira mu kkooti ejulirwamu ng’ayagala esazeemu ebyo ebyasalibwawo.

Mu ngeri y’emu, Angella Katatumba yeegaanyi okumanya Birigwa Katatumba gwe bamuwawaabira naye.

Yayongedde n’ategeeza nti ekizimbe kya Hotel Diplomate bakitwala nga maka gaabwe kwe babade babeera okumala ebbanga ddene era bukyanga kitaabwe afa, tewali muntu yenna yali alondeddwa kuddukanya bintu bya mugenzi nga Shukla bw’agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sak1 220x290

Gavumenti ekakasizza enkolagana...

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n'ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby'obulimi

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Ras13 220x290

Ekyabadde e Bugembe nga Bebe Cool...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako