TOP

Amawanga gasanyukidde okulekulira kwa Mugabe

By Cathy Lutwama

Added 22nd November 2017

AMAWANGA ag’enjawulo nad­dala aga Bulaaya gaasanyukidde okulekulira kwa Mugabe era ne galaga obweyamu okukolagana ne gavumenti empya okuzza Zimbabwe ku luguudo.

Mugaberesigns1 703x422

Robert Mugabe ne mukyala we Grace

AMAWANGA ag’enjawulo nad­dala aga Bulaaya gaasanyukidde okulekulira kwa Mugabe era ne galaga obweyamu okukolagana ne gavumenti empya okuzza Zimbabwe ku luguudo.

Amawanga okuli Bufaransa, Girimaani, n’amawanga amalala geegasse ku Amerika okuyo­zaayoza engeri enkyukakyuka mu Zimbabwe gye zaakwatid­dwaamu mu mirembe ne ziggwa nga tewali afunye kisago.

Katikkiro wa Bungereza The­resa May yagambye nti okuleku­lira kwa Mugabe kuwa Zimbabwe omukisa okutema empenda ezibatwala mu maaso nga tewali kunyigiriza bantu.

Yagambye nti Bungereza nga mukwano gwa Zimbabwe owedda, bagenda ku­kola kyonna ekisoboka okubawa­gira okubeera n’okulonda okw’amazima n’obwenkanya n’okuddamu okuzimba ebyen­funa by’eggwanga.

 kulekulira kwa ugabe kwawadde bannansi essanyu eritagambika Okulekulira kwa Mugabe kwawadde bannansi essanyu eritagambika.

 

Zimbabwe lyali ttwaale lya Bungereza nga liyitibwa Rhodesia era baatabuka nga Mugabe agobye Abazungu mu masamba n’agagabira abad­dugavu abaazirwanako.

Mugabe yagenze okulekulira nga Emmerson Mnangagwa eyalondeddwa ab’ekibiina ekiri mu buyinza mu Zimbabwe okudda mu bigere bya Mugabe yaakaweereza ekiwandiiko ekigaana okusisinkana Mugabe eyabadde amuyise boogere.

Kigambibwa nti Mnangagwa yabadde yeekengedde nti mu kugenda okusisinkana Mugabe ayinza okugwa mu butego obuy­inza okusaanyaawo n’obulamu bwe kubanga ababiri bano kati kabwa na ngo.

Mnangagwa baamuwa obutwa obw’ekika kya Thalium mu Au­gust 2017 wabula Gen. Chiwenga n’amuyambako okufuna obujjanjabi n’asimattuka.

Kyokka omukutu gwa Daily News ogwa Zimbabwe gwategeezezza nti Mugabe mu kuyita Mnangagwa yabadde agezaako kuzza nkolagana ng’amaze okugonda era ng’ayagala Pulezidenti anaamuddira mu bigere akkaanye n’ebyo amagye bye gaabadde geeyamye okukola.

Amagye nti gaasoose kuwaliriza Mugabe ak­kirize okulangirira nga bw’azzizza Mnangagwa ku bumyuka bwa Pulezidenti nga kino kitegeeza nti okulekulira kwa Mugabe kuba kutegeeza nti Mnangagwa y’afuuse Pulezidenti ow’ekiseera.

Ebyo byonna Mugabe nti yabadde ayagala abyogereko ne Mnangagwa wabula omusajja ono eyakazibwako “Ngwenya” (ekitegeeza Ggoonya) n’abigaana.  

 Ebizze bibaawo

 November 6: Omumyuka wa Pulezi­denti Emmerson Mnangagwa avumirir­wa mu lujjudde era Mugabe amugoba ng’amulanga okwagala okutwala obuyinza ng’ayita mu ddogo.

November 13: Omuduumizi w’amagye Gen. Constantino Chiwenga akola sita­timenti etali ya bulijjo nti amagye gajja kuyingirawo ssinga bannabyabufuzi tebeetereeza

November 14: Ttanka z’amagye ziva mu nkambi ne zisalako ekibuga ekikulu Harare, gawamba leediyo ne ttivvi.

November 15: Amagye galangirira nti Pulezidenti Mugabe bamusibidde mu makaage era tajja kugafuluma.

November 16: Emikutu gy’amawulire egya Gavumenti giraga ebifaananyi nga Mugabe ataddeko akamwenyumwenyu n’omuduumizi w’amagye wakati mu nteeseganya ezaali zigenda mu maaso.

 November 17: Amagye gakki­riza Mugabe okwetaba ku mukolo gw’amatikkira ogw’ekimpoowoze era tegaamukkiriza kuwerekerwako muntu.

November 18: Abantu abasukka mu kakadde beeyiwa mu nguudo z’ekibuga ekikulu Harare okwekalakaasa nga baagala Mugabe abaviire

November 19: Ekibiina kya ZANU –PF ekya Mugabe kimugoba ku buku­lembeze bwakyo era ne kimulagira okulekulira. Amatiza amagye nti agenda kulekulira ne bamukkiriza okulabikira ku ttivvi y’eggwanga kyokka n’asoma ebintu ebirala.

November 20: Akakiiko akafuzi aka ZANU PF katandika entegeka ez’okumuggyamu obwesiga nga bayita mu Palamenti.

November 21: Entegeka z’okumuggyamu obwesige ziba zitan­dika mu Paalimenti n’alekulira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu