TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bawambye omwana w'omuwaabi wa Gavt. ne basaba bukadde

Bawambye omwana w'omuwaabi wa Gavt. ne basaba bukadde

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd November 2017

"Omuzigu ono yabadde takwata ssimu zaffe naye nga waliwo omu ku batuuze eyasoose okukuba ku ssimu gye yaleseewo obwedda gw'awuliziganya naye. Poliisi ye Kawempe yankwasizza aba Fly­ing Squad ne CIM ne batandika okuyigga omwana.

Ampadde1 703x422

Dan Ampadde (ku kkono) ng'ali ne bazadde b'omwana eyabadde awambiddwa.

 Bya NALUNGA NE PAULINE BABIRYE

OMUZIGU awambye omwana wa munnamateeka n'amukweka n'assa abazadde ku bunkenke ng'asaba ssente 6,000,000/- oku­mukomyawo.

Okuva ku Mmande omuzigu lwe yawambye omwana abadde alabula bazadde be ng'akozesa essimu nti, ssinga balwawo oku­musindikira ssente ekiddako ku mwana waabwe tebamunenya.

Abazadde baamwegayiridde n'akkiriza obukadde buna era olwabumusindikidde, om­wana n'amuwa owa bodaboda n'amubatwalira ku poliisi.

Wabula poliisi yanywezezza owa boda­boda agiyambeko mu kunoonya eyabadde awambye omwana.

Farouk Lubega 42, kitaawe w'omwana ne nnyina ne Nabalun­zi Lubega 35, abatuuze mu Tamale Zooni mu muluka gw'e Maganjo mu Nansana Town Council mu disitulikiti y'e Wakiso n’okutuusa kati bakyalimu ekiwugwe ky’omwana waabwe Edris Yiga ow'emyaka ebiri n'ekitundu.

Omuzigu ono olwamaze okuwamba Iga ku Ssande ya wiiki ewedde yawandiise ennamba y’essimu ye ku dduuka eriri mu maaso ng’ekikomera kya Lubega.

Yazzeemu n'awandiika enna­mba y’essimu eno ku lupapula n'awandiika n’omuwendo gwa ssente z'ayagala n'abissa mu bbaasa n'agiwa omuntu agitwalire bazadde b'omwana.

Mu kiseera kino abazadde baabadde bamaze okuggu­lawo omusango ku poliisi y’e Kawempe ku fayiro nnamba SD REF:57/19/11/2017.

 maka ga ubega gwe baawambyeko omwana Amaka ga Lubega gwe baawambyeko omwana.

 

Paruth Namuyiga omukozi w'awaka yategeezezza nti, ku Ssande akawungeezi Iga yafulu­mye wabweru w’ekikomera oku­zannya ne banne nga bw'abadde akola bulijjo.

Yagasseeko nti mu obwedda afuluma n’abakeberako nga we baali bazannya wabula ku ssaawa ku 12:00 akawungeezi yafulumye okunona Iga okumuwa caayi nga tamulabako n'akubira bazadde be.

MAAMA W’OMWANA ALOJJA

"Ku Ssande nabadde nkyadde nagenze okudda awaka nga bangamba nti omwana bamuwambye era abamuwambye baagala ssente obukadde mukaaga.

Omuzigu ono kirabika atumanyi nga famire. Ob­wedda akubira ku ssimu nnamba 0759804156 ng'eri mu mannya ga Samuel Mubiru."

TAATA NAYE AYOGEDDE

"Omuzigu ono yabadde takwata ssimu zaffe naye nga waliwo omu ku batuuze eyasoose okukuba ku ssimu gye yaleseewo obwedda gw'awuliziganya naye. Poliisi ye Kawempe yankwasizza aba Fly­ing Squad ne CIM ne batandika okuyigga omwana.

Ku Mmande ssaawa 5:00 ez’oku makya omuz­igu yakkirizza obukadde buna ne tubumusindikira ku ssimu.

Ng’amaze okuzifuna yatuki­bidde essimu n'atugamba nti. omwana wammwe mmuwadde owa bodaboda abamuleetere era mu mulindire ku ssomero lya Ki­naawa High.

Twayise abaserikale okuva ku CPS era owa bodaboda olwatuusizza omwana ku ssaawa nga 8:00 ne bamukwata."

POLIISI KY'EGAMBA

Agnes Anonyo akulira poliisi y'e Kawempe yategeezezza nti okuwambibwa kw’omwana ono nga kumaze okutegeerebwa, ebi­tongole ebikuumaddembe bingi byasitukiddemu okumunoonya ng’era owa bodaboda eyak­watiddwa yatwaliddwa ku CPS gy'akuumirwa.

Ye Dan Ampadde akulira poliisi y'e Ttula yategeezez­za nti, yakwataganye n’abazadde ne batandika okunoonya omwana okutuusa lwe yazuuliddwa.

OMWANA BYE YALABYE

Omwana yagambye nti, baamu­liisa omuceere n'ennyama ate yasula ne 'Anti' ate enkeera yabadde azan­nya n'abaana abalala abali awaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans