TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka mwennyamivu olwa siriimun okuddamu okwegiriisa mu bavubuka

Kabaka mwennyamivu olwa siriimun okuddamu okwegiriisa mu bavubuka

By Musasi wa Bukedde

Added 26th November 2017

SSABASAJJA Ronald Muwenda Mutebi anenyezza abantube olw’ekwesibako endwadde ya siriimu gye baali batudde ku nfette nga kati ezzeemu okwegiriisa naddala mu bavubuka olw’okugaana okugoberera amagezi g’abasawo ag’okumwewala, okwekebeza n’okwejjanjabisa.

Kabaka 703x422

Abayizi nga basanyukira Ssaabasajja Kabaka

BYA SAMUEL KANYIKE

Yasinzidde ku kisaawe e Bukalasa mu Bulemeezi ng’aggalawo fayinolo y’empaka z’emipiira gy’ebika bya Buganda n’agamba nti enkulaakulana gye bayimbirira tejja kutuukibwako ng’abantu be balwadde.          

“Obulwadde bwa siriimu butufuukidde ekizibu eky’amaanyi ddala naye nga ffe ffennyini abeesibyeko nnawokeera ono kuba tugaanyi okugoberera amagezi g’abasawo mwe batunnyonnyolera nga basinziira ku mikutu gy’empuliziganya egy’enjawulo nga bakubiriza abantu okwewala mukenenya, okwekebeza n’okwejjanjabisa nga bamira eddagala ”, Kabaka bwe yagambye.     

Yagasseeko nti newankubadde biri bityo kyennyamiza nti siriimu eyali atuuliddwa ku nfette azzeemu okwegiriisa naddala mu bavubuka ng’ebitundu 10 ku 100 babulina kyokka nga eby’embi talina ddagala limuwonya, n'asaba abantu naddala abavubuka okumwewala nga beekebeza n’okugoberera amagezi agabaweebwa abasawo.     

Ssabasajja yayozaayozezza ekika ky’effumbe n’ente okutuuka ku fayinolo y’empaka z’ebika n’enteekateeka ennungi n’asaba bigende mu maaso.       

Katikkiro Charles Peter Mayiga, minisita w’abavubuka n’ebyemizannyo mu Buganda, Sekabembe Kiberu, n’abakungu abalala beetabye ku mukolo guno.

Engabo yawangudde abeddira Ente eyakubye Effumbe ggoolo 1-0.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pulezidenti Museveni ne Kagame...

PULEZIDENTI Museveni ne munne Paul Kagame enkya ku Lwokusatu basuubirwa okuddamu okusisinkana mu Angola mu lukung’aana...

Katolubwamalubaga2 220x290

Honalebo ennuuni eyo tugende nayo...

OMUBAKA wa Lubaga South, Kato Lubwama asimbudde. Ku Lwokutaano yababidde abatuuze b’e Lubaga South ebintu omwabadde...

Sengendo2002web 220x290

Twagala abakazi abateekomomma mu...

Abasajja banoonya abkazi baakuwasa nga tebeekomomma mu kulaga amapenzi, abalungi ate nga baabuulirirwa

Sharonweb 220x290

Banoonya abasajja abateemotyamotya...

Abakazi abanoonya abasajja abateemotyamotya mu laavu.

Prowew 220x290

Proline etutte Matia Lule

Ekifo ekyabadde ekya Shafiq Bisaso ku Proline kitwaliddwa Matia Lule.