TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Baminisita ba Mugabe ababbye babasibye ku njegere

Baminisita ba Mugabe ababbye babasibye ku njegere

By Musasi wa Bukedde

Added 27th November 2017

Abadde Minisita w’Ebyensimbi, Ignatius Chombo ye musajja wa Mugabe ow’okulusegere asoose okusimbibwa mu kkooti olw’ebyobugagga ebiwuniikiriza by’alina nga bibalirirwamu ssente ezisoba mu ddoola obukadde 500 (mu za Uganda obuwumbi nga 1,800) omuntu omu yekka!

Mama 703x422

Emu ku nnyumba za Chombo abadde minisita w’ebyensimbi eyakwatiddwa. Mu katono, Chombo ne mukazi we.

GAVUMENTI ya Zimbabwe empya etandikidde mu ggiya okukwata n’okuggalira abamu ku baminisita ne basajja ba Mugabe ab’oku lusegere ababadde mmo mu kulya enguzi n’okwegaggawaza ku nsimbi ey’omuwi w’omusolo.

Abadde Minisita w’Ebyensimbi, Ignatius Chombo ye musajja wa Mugabe ow’okulusegere asoose okusimbibwa mu kkooti olw’ebyobugagga ebiwuniikiriza by’alina nga bibalirirwamu ssente ezisoba mu ddoola obukadde 500 (mu za Uganda obuwumbi nga 1,800) omuntu omu yekka.

Chombo y’omu ku bammemba b’akabinja aka G40 aka Bannabyabufuzi mu gavumenti ne mu kibiina kya ZANU PF ababadde balya Mugabe mu ngalo Bannamagye be baayogeddeko ng’abamenyi b’amateeka ababadde beebunguludde Mugabe era nga bawagira mukazi we Grace Mugabe okumuddira mu bigere.

Amagye g’amusanze n’ensimbi mu mpeke eziwera obukadde bwa ddoola kkumi!
 
Mu za Uganda bwe obuwumbi 36 b’eddu ng’azirina awo alyako n’okugulako ebikozesebwa awaka!

Yasimbiddwa mu kkooti n’abamu ku babadde bakulira ettabi ly’Abavubuka ba ZANU PF youth Wing okuli; Kudzanai Chipanga ne Innocent Hamandishe ne baggulwako emisango egy’obuli bwenguzi n’okweyambisa obubi ebifo byabwe mu gavumenti.

Chombo y’omu ku baminisita ba Mugabe abasooka okukwatibwa ng’amagye gaakawamba obuyinza mu Zimbabwe nga yakwatibwa ne baminisita abalala okuli; owa Gavumenti Ezeebitundu Saviour Kasukawere, Polof. Jonathan Moyo abadde ow’Ebyenjigiriza ebya waggulu ne Tekinologiya ne Minisita w’Ebyabuvuka Patrick Zhuwao ng’ono abadde ayita Mugabe kojja.

Wabula Zhuwao, Kasukawere ne Polof. Moyo oluvannyuma baabinyise mu nsuwa ne baddukira e South Afrika wiiki ewedde amagye bwe gaabayimbudde nga bwebongera okunoonyerezebwako.

Ebimu ku by’obugagga bya Chombo kuliko Yiika z’ettaka ezisoba mu 30,000. Ffaamu gaggadde 45, amayumba agasulwamu 89 mu bibuga eby’enjawulo mu Zimbabwe ne mu South Afrika, emmotoka ez’obwannanyini 340 okuli eza buyonjo, ez’ebyobusuubuzi nga bbaasi, Tuleera, Loole, Tulakita , gattako ne Pikipiki 1,040 ezisaabaza abantu.

Ku bino kw’aogatta amakampuni 13 agali mu bizinensi ez’amasimu, eby’obulimi, okusuubula ebweru w’eggwanga n’ebirala wamu nga zino abadde azeeyambisa okutunda n’okuguza gavumenti ebikozesebwa n’ayoola ssente empya n’enkadde.

Kkooti mu kibuga Harare eyatudde ku Lwomukaaga yasindise Chombo ku Limanda okutuuka enkya ku Mmande wabula Chombo yeemulugunyizza nti amagye gaamutulugunyizza nnyo ebbanga erya wiiki bbiri z’amaze mu kaduukulu k’amagye.

Abantu abasoba mu 150 be baakwatiddwa amagye mu kikwekweto ekyatuumiddwa ‘Operation restore Legacy ‘ ekyaduumiddwa ekulira amagye ga Zimbabwe Gen. Constatino Chiwenga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...