TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Munnansi wa Rwanda bamukutte akukusa enjaga ya bukadde 397!

Munnansi wa Rwanda bamukutte akukusa enjaga ya bukadde 397!

By Eria Luyimbazi

Added 27th November 2017

OMUKAZI abadde akukusa enjaga ebalirirwamu obukadde 397 agiyise ku kisaawe e Ntebe poliisi emuggalidde.

Kwata 703x422

Isaro n’enjaga gye baamukutte nayo. ku kkono ye Ssekate.

Beatrice Isaro munnansi wa Rwanda yakwatiddwa abaserikale ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe.

Enjaga yabadde agitadde mu kkeesi ey’olugoye. Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate yagambye nti Isaro yasangiddwa ne paasipooti ya Rwanda nnamba EC 298229 n’enjaga ya kkiro 1.59 gye yabadde atwala e Mali.

Yakwatiddwa n’omusajja Haruna Koli eyabadde amuwondera.

Yagguddwaako omusango gw’okugezaako okukukusa enjaga ku fayiro CRB 333/17.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai