TOP
  • Home
  • Amawulire
  • DP evuddeyo ku njawukana mu FDC: Ewaanye Gen. Muntu

DP evuddeyo ku njawukana mu FDC: Ewaanye Gen. Muntu

By Muwanga Kakooza

Added 28th November 2017

DP evuddeyo ku byavudde mu kulonda kwa FDC n’esaba eyazze ku bwaPulezidenti bw’ekibiina kino Patrick Amuriat okufuba okuwonya ‘’ebiwundu’’ ebyaleEteddwa kampeyini y’okukyusa obukulembeze.

Mao 703x422

Nobert Mao ng’ayogera eri bannamawulire.

Pulezidenti wa DP  Nobert Mao era awaanye abadde akulira FDC Gen. Mugisha Muntu n’agamba nti musajja mukkakkamu era omwesimbu n’amusaba agumire ‘’okusekererwa mu kiseera kino’’ kyokka nti gye bujja ensi erimutendereza.

Bino Mao abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku kitebe kya DP mw’asinzidde n’okutegeeza  ng’ekibiina bwe kitegese ebikujjuko ebitali bimu omuli okukumba, ebivvulu by’ennyimba n’emisomo okukuza olunaku lw’eddembe ly’obuntu mu nsi olunabaawo December 10.

Mao agambye nti yayogedde ne Gen. Muntu wamu n’eyamuwangudde Patrick Amuriat oluvannyuma lw’okulonda n’amukakasa nti DP egenda kusigala ng’ekolagana ne FDC. Era n’ategeeza nti Amuriat yamugambye nti agenda kuba n’obukulembeze obukolagana na bonna.

Ategeezezza nti Gen. Muntu ajja kujjukirwako olw’okuba n’obukulembeze obw’emirembe n’agamba nti ne bw’aba alumbiddwa mu bukambwe obuyitirivu tatera kuzza muliro.

Nobert asabye ab’oludda oluvuganya okufuba okulaba nga beewala enjawukana ezireetebwa amawanga, ebyenfuna n’ebirala, n’asaba n’ab’ebibiina by’obufuzi obutalwanagana ng’agamba nti bwe banaakikola Pulezidenti Museveni ajja kubayita ‘’babbabbalukanyi.’’

Ku bigambibwa nti Gen. Muntu abadde afudde FDC ‘’ssekibotte’’ olw’okugaana okutambulira ku nkola y’okukuguba (ey’okulwagana obutereevu ne gavumenti), Mao agambye nti talabawo buzibu wakati w’enkola ya Gen. Muntu ne Amuriat eyamuddidde mu bigere akkikiriza mu kukozesa ekifuba okwang’anga omulabe.

Mao yagambye nti abakulembeze bombi bakolerera kugenda maaso kwa FDC n’olwekyo kino takiraba ng’ekyandibadde kireeta enjawukana.

‘Ne bwe kuba kuguguba omuntu alina okukikola nga yetegese bulungi’’ Mao bw’agambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Ssemogerere ayingidde mu nkaayana...

EBIKONGE bya DP ebikulembeddwa eyali Pulezidenti, Dr. Paul Kawanga Semogerere ne bannaddiini abakulu mu ggwanga...

Unity 220x290

Bakutte agambibwa okukuba Imaam...

POLIISI ekutte omusajja agambibwa okukuba Imaam w’e Iwemba, Bugiri Sheikh Masuudi Mutumba amasasi agaamusse n’atwala...

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...