TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebizuuse ku baana 3 Kabaka b'abeera nabo mu Lubiri

Ebizuuse ku baana 3 Kabaka b'abeera nabo mu Lubiri

By Musasi wa Bukedde

Added 28th November 2017

Famire ya Ssaabasajja eyongedde okugaziwa. Kabaka yasiimye gye buvuddeko n’aleetayo abaana abalala basatu mu Lubiri. Kuliko omulenzi n’abawala abalongo - Jade Catherine Nakato ne Jasmine Rebecca Babirye.

Paka 703x422

Ssemakokiro (ku kkono) ne banne ku mukolo ogumu Kabaka gwe yaliko ku ssomero lya Janan e Bombo.

Abalongo bano baazaalibwa December 6, 2010 ekitegeeza nti basingako Omulangira Richard Ssemakokiro omwaka gumu. Ssemakokiro yazaalibwa July 10, 2011.

Abaana bano bamaze ekiseera nga babeera ne Ssemakokiro ku mikolo gya Kabaka ne Nnaabagereka. Baabatiziddwa ne Ssemakokiro mu Lutikko e Namirembe nga August 19, 2017.

Empapula okuli ebibakwatako ziraga nti kitaabwe ye Kabaka Mutebi ate nnyaabwe ye Nnaabagereka.

Kyokka ensonda mu Lubiri n’abantu abakulu abagoberera eby’omu Lubiri baategeezezza Bukedde gye buvuddeko nti ekibafuula abaana ba Kabaka lwa kuba nti y’agenda okubakuza ne Nnaabagereka.

Abazadde baabwe (amannya galekeddwa) baabawa Omutanda ne Nnaabagereka era kati be bazadde baabwe.

Ensonda zaategeezezza nti abaana baaleetebwa mu Lubiri mu nteekateeka y’okukuza Ssemakokiro obulungi nga bazannya naye, okusoma naye awaka ne mu ssomero.

Kabaka Mutebi naye bwe yali omuto, ng’amaze okukuza amazaalibwa ge agaasooka mu 1956, alina abaana b’emyaka gye be yazannyanga nabo n’okusoma nabo mu kasomero ka nassale ak’abaana b’ehhoma mu lubiri.

Essomero lino lyali mu kizimbe kya London House nga liyitibwa Aunt Clare, okusinziira ku kitabo kya Mutebi Kabaka Wange ekyafulumizibwa Bukedde mu 2015, Kabaka bwe yali ajaguza emyaka 60. Kyokka mu 1960 nga Kabaka alina emyaka etaano gyokka, yatwalibwa e Bugangaizi akulire eyo abeere mu bulamu bw’abantu be.

Bino byakolebwa okuteekateeka Mutebi okukula ng’alina ebisaanyizo by’omukulembeze kubanga Ssekabaka Mutesa yali amaze okumulaba ng’omulangira alisikira Nnamulondo.

Kyokka ekyo tekisobose ku Ssemakokiro olw’enkyukakyuka ezizze zibeerawo mu Buganda n’ensi yonna ezikalubizza enteekateeka y’Abalangira okutwalibwanga mu maka amalala ne bakuzibwa eyo nga batendekebwa okufuuka abakulembeze.

Mu kiseera kino, kumpi tewakyaliwo maka gasobola kukola ekyo - abaana b’amaka amagunjufu agagwa mu ttuluba eryo abasinga basomera mu bisulo; abatendeka obukulembeze, empisa n’ebyobuwangwa bwa Buganda mu maka tebakyaliyo oba bwe babaayo si bangu kuzuula.

Kati ekkubo erisinga obulungi okukuza omwana, lya muzadde kumwekuliza. Mu mbeera eyo, kigambibwa nti Ssaabasajja kwe kusalawo Ssemakokiro emyaka gy’obuto agimalire mu lubiri kyokka ng’ayisibwa mu byonna ebyandikoleddwa ku mulangira ateekebwateekebwa okuba omukulembeze.

Ekyo tekyandibadde kyangu nga Ssemakokiro ali yekka. Kwe kumufunira abaana b’emyaka gye b’anaakula nabo nga baganda be.

Y’ensonga lwaki abaana abo baafuuka ba Kabaka. Era n’amannya g’abazadde baabwe tegalabika ku biwandiiko ebiboogerako.

Abaana ba Kabaka abalala kuliko Chrispin Kiweewa Jjunju, Joan Nassolo, Nnaalinnya Victoria Nkinzi, Sarah Katrina Ssangalyambo ne Richard Ssemakokiro.

MINISITA ANNYONNYODDE

Minisita w’Ebyobuwangwa, Ennono n’Obulambuzi mu Buganda, Denis Walusimbi yategeezezza Bukedde gye buvuddeko nti empisa y’okukuza abaana mu Buganda efaananagana wadde ng’enkuzibwa y’abaana b’ Ehhoma, eyongerwamu obwegendereza bungi.

“Mu kukuza abaana, Omuganda yalabiranga ddala nti omwana ava buto ng’alambikibwa mu mbeera y’ensi kuba buli omu azaalibwa alina obuvunaanyizibwa okugeza azaalibwa Jjajja, Taata, Baaba n’ebiti ebirala. Kati omuzadde abeera n’obuvunaanyizibwa obuteekateeka omwana okulaba bw’anaatambuzaamu obuvunaanyizibwa buno,” Walusimbi bwe yannyonnyodde.

N’agamba nti Abaana b’Ehhoma bafiibwako olw’obuvunaanyizibwa obukulu bwe balina mu Bwakabaka. Abato bwe babeera bakuzibwa, bakula ne bannaabwe abalabibwa nti balina ebisaanyizo, okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta