TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kasitoma gwentera okuguza amatooke abuze n'omwana wange

Kasitoma gwentera okuguza amatooke abuze n'omwana wange

By Musasi wa Bukedde

Added 29th November 2017

Omukazi omusuubuzi w’amatooke mu katale k’e Kamuli akanene mu disitulikiti y’e Kamuli ali mu maziga oluvannyuma lwa kasitoma gw’abadde atera okuguza amatooke okubula n’omwana we ow’emyaka 10.

Nalongoscoviakubaza 703x422

Nnaalongo Scovia Kubaza ng’annyonnyola ab’amawulire engeri omwana gye yamubbiddwaako.

Bya TOM  GWEBAYANGA

Nnaalongo Kubaza Scovia, 38 , ow’omu zooni y’e Bunangwe mu kibuga ky’e Kamuli y’asobeddwa eka ne mu kibira oluvannyuma lw’omukazi abadde kasitoma owaabulijjo okubula ne muwala we, Sylivia Mugala asoma mu P3.

Bino byabaddewo ku Lwokubiri emisana, omukyala atamanyiddwa na mannya ge bwe yabbye omwana ono, Poliisi  n’abatuuze ne batandikirawo omuyiggo.

Kubaza yannyonnyodde nti omukazi ono abadde Munyankole era nga kumpi buli lunaku amugulako amatooke ga 5,000/- n’omusobyo, nga n’abaana baamumanyiira.

Kuluno yaguze ga 6,000/-, ge yamuwaatidde n’agamuteekera mu kaveera, olwo n’alagira Mugala amuwerekereko, kyokka abagenze ku ssaawa 7 ez’emisana zaatuuse 1:00 ey’akawungeezi ng’omwana tannakomawo.

Omutima gwatandise okumutundugga n’aggwaamu essuubi, ekyamuwalirizza okutema emiranga egyasombedde abantu ne batandika okunoonya omwana.

Nnaalongo yattutte alipoota ku Poliisi nabo batandika omuyiggo okuzuula omwana gy'ali.

Nnaalongo Scovia Kubaza ng’annyonnyola ab’amawulire engeri omwana gye yamubbiddwaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...