TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Kibuuka talabiseeko mu kkooti ku misango gy'okulebula Ssaabasumba Lwanga

Bp. Kibuuka talabiseeko mu kkooti ku misango gy'okulebula Ssaabasumba Lwanga

By Musasi wa Bukedde

Added 29th November 2017

BISHOP Jacinto Kibuuka talabiseeko mu kkooti ku misango egimuvunaanibwa egy'okulebula Ssaabasumba ow'essaza ekkulu erya Kampala ne Ssabasumba John Baptist Odama, atwala essaza ly'e Gulu.

Judembabaalikukkononomubakajosephssewungukukootiyabugandaroad 703x422

Jude Mbabali, omu ku balooya b'Abakatoliki n'omubaka Ssewungu nga bali ku kkooti . EKIF: MARGARET ZALWANGO

Ono yawawaabirwa bannamateeka Abakatoliki nga bayita mu kibiina kyabwe ekya Uganda Catholic Lawyers’ Society wamu n’omubaka wa Kalungu County West, Joseph Ssewungu.

Kibuuka bamuvunaana okusigala nga yeenaanika ebyambalo by'Ekikatoliki, okusinza mu ngeri y'emu nga Abakatoliki ng'ate yava mu Bukatoliki saako n'okuvuma abakulu mu ddiini y'Ekikatoliki n'ekigendererwa ekyokunyiiza abakkiriza mu Ekleziya.

Puliida wa Kibuuka, Anthony Wameri ategeezezza nti omuntu we tazze mu kkooti kuba yafunye ebiwandiiko kikeerezi nga tayinza kulekawo mirimu gye kujja mu kkooti, n'ayongerako nti bafunye n’ebbaluwa okuva ewa Ssaabawaabi wa gavumenti ng’egamba nti omusango omuwaabi wa gavumenti yagweddiza okuguwoza.

Oludda oluwaabi lugamba nti nga October 29 omwaka guno Bishop Kibuuka n'ekigendererwa eky'okunyiiza Abakatoliki yali ku leediyo emu (Beat Fm ng'akyaziddwa Katongole Omutongole) n'ayita Ssababasumba Lwanga ne Ssababasumba Odama nti “bayaaye” ekintu ekityoboola ekitiibwa kyabwe saako ekifaananyi kyabwe mu bantu be bakulembera.

Omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Buganda Road, Charles Yeteise awadde nga December 8, 2017 omusango lwe gunaddamu okuwulirwa mu kkooti .

Omubaka Ssewungu mu kwogerako n'abaamawulire ategeezezza nti kyebagala kwe kulaba nga Kibuuka aggyamu ekyambalo ky’Obukatoliki n'okukyusa ensiza gy'asinzaamu n'bagoberezi be gy'agamba nti Nkatoliki ewedde emirimu kyokka nga Kibuuka mwene yalangirira nti avudde mu Bukatoliki nga tewali n'omu amugobye n'agenda mu nzikiriza ya Envangelical Orthodox Church.

Abagoberezi ba Kibuuka wakati mu kuleekaanira waggulu balabudde omubaka Ssewungu ave ku nzikiriza yaabwe kubanga buli Munnayuganda alina eddembe okusinza mu ngeri gy'ayagala.

Bano babadde bakutte ebipande ebiriko ebigambo ebigamba nti “Ssewungu va ku Bishop waffe, mutuleke mutwagaza ki”.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga