TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Chameleon bimwonoonekedde! Bamutwala mu kkooti lwa kulya ssente obukadde 225 n’agaana okuyimba

Chameleon bimwonoonekedde! Bamutwala mu kkooti lwa kulya ssente obukadde 225 n’agaana okuyimba

By Musasi wa Bukedde

Added 1st December 2017

Zaina Namuwonge owa Sezana Promotions Munnayuganda abeera e South Afrika yatabukidde Chameleone ayagala amuliyirire obukadde 225 ze yamufiiriza bwe yamusasula okugenda okuyimba e South Africa kyokka n’atagenda.

Laba 703x422

Chameleon ne Zaina abanja obukadde 225

Zaina ng’ayita mu bannamateeka be aba Lukwago & Co. Advocates, awadde Chameleone ennaku ttaano okuva ku lunaku lw’anaafunirako ebbaluwa gye bamuwandiikidde asasuliremu ssente zonna ezamusaasaanyizibwako n’amagoba n’eza balooya, bw’alemererwa omusango bagwongereyo mu kkooti.

Nathan Mpenge omu ku balooya ba kkampuni eno yagambye nti mu October wa 2015, Zaina yakola endagaano ne Chameleone okuyimba ku bivvulu bye yali ategese mu bibuga by’e South Afrika okuli; Durban, East London, Pretoria ne Cape Town kyokka teyalabikako.

Agattako nti, oluvannyuma Chameleone yamusaba addemu amutegekere mu 2016 kubanga mu kusooka pasipooti ye baali bagibbye.

Yakikola kyokka era ne ku mulundi guno, Chameleone teyalabikako! Yannyonnyodde nti olugendo lwa Chameleone Zaina yalusaasaanyizaako obukadde 53 okuli obukadde 15 (ekitundu) ze yamuwaako ku ssente ze yalina okuyimbira, tikiti z’ennyonyi ssatu okuva mu Uganda okugenda e South Afrika ne tikiti endala ez’okubatambuza mu bibuga gye yalina okuyimba, okusasula ebifo we yalina okuyimbira, okulanga ebivvulu n’awookusula.

Ayongerako nti ng’oggyeeko abantu okwonoona ebintu by’omu bifo ebisanyukirwamu olwa Chameleone gwe baali basasulidde obutalabikako, embeera eno yaviirako Zaina okukubwa puleesa n’amala wiiki nnamba ku kitanda era ng’okufiirizibwa kuno kubaliriddwaamu obukadde 150.

Zaina era ayagala Chameleone asasule amagoba ga 12,79,7771/- ne ssente za bannamateeka obukadde 10.

SSENTE BAZIPAAZIZZA

Oluvannyuma lw’okugezaako okufuna Chameleone ne kitasoboka, twayogedde ne Robert Nkuke amanyiddwa nga Mutima omu ku bayambi ba Chameleone. Mu kiseera ekyo Zaina mw’agambira okuweera Chameleone ensimbi, Mutima ye yali maneja wa Chameleone.

Wadde Nkuke yakkirizza ekya Zaina okusasula Chameleone ssente ku bivvulu by’e South Afrika, agamba nti amanyiiko obukadde 13 ate ku ky’obutayimba agamba nti tekyali kigenderere Chameleone obutagenda South Afrika kuba pasipooti kwe yalina okutambulira baagimubbako.

 aina ayagala hameleon amusasule obukadde 225 Zaina ayagala Chameleon amusasule obukadde 225

“Ebbanga Chameleone ly’amaze ng’akolagana ne Zaina yali asobola kumulyazaamaanya oba okugaana mu bugenderevu okuyimba wabula twafuna obuzibu bwa pasipooti era Zaina twamutegeeza.

Mmusaba ensonga azikwate mpola tulabe eky’okukola,” Mutima bwe yagambye. Yeewuunyizza okulaba nga ssente ezaali obukadde 13 ate zipaaziddwa ne zituuka mu bukadde obusukka 200.

 kuke Nkuke

 

Ku ky’ebbaaluwa ya bannamateeka, Nkuke yategeezezza nga bwe yabadde tennabatuukako.

Abamu ku bali mu nkambi ya Chameleone baategeezezza nti omuyimbi ono yagenze South Afrika era ekimu ku bimututte kwe kutereeza ensonga za Zaina n’okuyimba mu bivvulu ebyategekeddwa.

OMUYIMBI Jose Chameleone (Joseph Mayanja) bimwonoonekedde! Bamutwala mu kkooti lwa kulya ssente n’agaana okuyimba. Zaina Namuwonge owa Sezana Promotions Munnayuganda abeera e South Afrika yatabukidde Chameleone ayagala amuliyirire obukadde 225 ze yamufiiriza bwe yamusasula okugenda okuyimba e South Africa kyokka n’atagenda. Zaina ng’ayita mu bannamateeka be aba Lukwago & Co. Advocates, awadde Chameleone ennaku ttaano okuva ku lunaku lw’anaafunirako ebbaluwa gye bamuwandiikidde asasuliremu ssente zonna ezamusaasaanyizibwako n’amagoba n’eza balooya, bw’alemererwa omusango bagwongereyo mu kkooti. Nathan Mpenge omu ku balooya ba kkampuni eno yagambye nti mu October wa 2015, Zaina yakola endagaano ne Chameleone okuyimba ku bivvulu bye yali ategese mu bibuga by’e South Afrika okuli; Durban, East London, Pretoria ne Cape Town kyokka teyalabikako. Agattako nti, oluvannyuma Chameleone yamusaba addemu amutegekere mu 2016 kubanga mu kusooka pasipooti ye baali bagibbye. Yakikola kyokka era ne ku mulundi guno, Chameleone teyalabikako! Yannyonnyodde nti olugendo lwa Chameleone Zaina yalusaasaanyizaako obukadde 53 okuli obukadde 15 (ekitundu) ze yamuwaako ku ssente ze yalina okuyimbira, tikiti z’ennyonyi ssatu okuva mu Uganda okugenda e South Afrika ne tikiti endala ez’okubatambuza mu bibuga gye yalina okuyimba, okusasula ebifo we yalina okuyimbira, okulanga ebivvulu n’awookusula. Ayongerako nti ng’oggyeeko abantu okwonoona ebintu by’omu bifo ebisanyukirwamu olwa Chameleone gwe baali basasulidde obutalabikako, embeera eno yaviirako Zaina okukubwa puleesa n’amala wiiki nnamba ku kitanda era ng’okufiirizibwa kuno kubaliriddwaamu obukadde 150. Zaina era ayagala Chameleone asasule amagoba ga 12,79,7771/- ne ssente za bannamateeka obukadde 10. SSENTE BAZIPAAZIZZA Oluvannyuma lw’okugezaako okufuna Chameleone ne kitasoboka, twayogedde ne Robert Nkuke amanyiddwa nga Mutima omu ku bayambi ba Chameleone. Mu kiseera ekyo Zaina mw’agambira okuweera Chameleone ensimbi, Mutima ye yali maneja wa Chameleone. Wadde Nkuke yakkirizza ekya Zaina okusasula Chameleone ssente ku bivvulu by’e South Afrika, agamba nti amanyiiko obukadde 13 ate ku ky’obutayimba agamba nti tekyali kigenderere Chameleone obutagenda South Afrika kuba pasipooti kwe yalina okutambulira baagimubbako. “Ebanga Chameleone ly’amaze ng’akolagana ne Zaina yali asobola kumulyazaamaanya oba okugaana mu bugenderevu okuyimba wabula twafuna obuzibu bwa pasipooti era Zaina twamutegeeza. Mmusaba ensonga azikwate mpola tulabe eky’okukola,” Mutima bwe yagambye. Yeewuunyizza okulaba nga ssente ezaali obukadde 13 ate zipaaziddwa ne zituuka mu bukadde obusukka 200. Ku ky’ebbaaluwa ya bannamateeka, Nkuke yategeezezza nga bwe yabadde tennabatuukako. Abamu ku bali mu nkambi ya Chameleone baategeezezza nti omuyimbi ono yagenze South Afrika era ekimu ku bimututte kwe kutereeza ensonga za Zaina n’okuyimba mu bivvulu ebyategekeddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...