TOP

Atemye kojjaawe n'amutta lwa ssente 300,000/-

By Musasi wa Bukedde

Added 1st December 2017

OMUVUBUKA awuniikirizza ekyalo bw’akkakkanye ku kkojjaawe n’amutema embazzi emwasizza omutwe olw’okugaana okumuwa ssente 300,000/- ne pikipiki.

Bakuwe1 703x422

Peter Katongole. Ku ddyo ye John Ssemuju eyasse kkojjaawe. EBIFAANANYI BYA FLORENCE TUMUPENDE

Ettemu lino libadde Kyassonko mu ggombolola y’e Kisekka mu disitulikiti y’e Lwengo, John Ssemujju 20 bw’atemye kojjaawe Peter Katongole 35, olw’okugaana okumuwa ssente ze yatunze mu mmwaanyi.

TAATA W’OMUGENZI AYOGEDDE

“Mbadde sisuubira nti muzzukulu wange ayinza okukola ekikolwa kino kuba mutabani wange ye yamuweerera okuva mu P1 okutuuka mu S4 n’amunoonyeza n’omulimu.

Yagasseeko nti, “Ssemujju abadde muntumulamu kyokka obulumi bw’andekedde bw’amaanyi simanyi abaana bwe bajja okusobola okusoma w’atali.

wooluganda ngabudaabuda omu ku bamulekwaOwooluganda ng'abudaabuda omu ku bamulekwa

Ekinnuma ne nnyaabwe ye yasooka okufa eyandibadde abalabirira. Nsaba omwana ono akangavvulwe ng’amateeka bwe galagira”.

MULEKWA ALOJJA

Angel Namuwulya yagambye nti, “Ssemujju yasaba taata amuwe ssente ne pikipiki nti alinako w’alaga era taata byonna n’abimuwa. Wabula olwali okusimbula nayogera nti mu bbanga eritali ly’ewala alina okufuna pikipiki.

Kino kyasanyusa taata n’amubuuza nti bakwongezza omusaala? Yamuddamu kimu nti okunnyongeza omusaala! N’atambula n’agenda kati bugenze okukya ttaata nga mufu.

 mukungubazi ngalaga pikipiki yomugenzi gye baasuzizza omutemu Omukungubazi ng'alaga pikipiki y'omugenzi gye baasuzizza omutemu

Abatuuze nga bakulembeddwa kansala Mande Kikomeko ne William Kibirige abaatuute omugenzi mu ddwaaliro bategeezeza nti yababuulidde nga tannafa nti Ssemujju atutte pikipiki ne 300,000/- n’amutema.

Akulira bambega Ester Akware n’abatuuze baasanze Ssemujju mu nsiko ne bamukwata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu

Sit14 220x290

Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko...

Polof. Nawangwe ataddewo akakiiko ku mivuyo gya gawuni e Makerere

Tip25 220x290

‘Temunkuba obwavu bwe bunkoza kino...

‘Temunkuba obwavu bwe bunkoza kino